TOP

KCCA FC erumbye Z mu mpaka za CECAFA

Added 16th July 2015

KCCA FC esitudde leero okugenda mu mpaka za CECAFA e Dar es salaam wakati mu kusika omuguwa mu bakungu n’abatendesi Mike Mutebi ne Sam Ssimbwa.

Bya HUSSEIN BUKENYA


KCCA FC esitudde leero okugenda mu mpaka za CECAFA e Dar es salaam wakati mu kusika omuguwa mu bakungu n’abatendesi Mike Mutebi ne Sam Ssimbwa.

Ekyatabudde enjuyi zombi kyabadde Mutebi kutegeeza nga bw’ayagala okutwala ttiimu ye ey’abatendesi banne omwenda bwe bakola omulimu kyokka nga abakungu ba KCCA bagamba nti okutwala abantu abo bonna kuba kudiibuuda ssente.

Mutebi yabadde ayagala kutwala ttiimu yonna ey’ebyekikugu (abatendesi musanvu n’abasawo babiri) nga bakama be basemba agende n’abatendesi bataano n’omusawo omu mu kwagala okukekkereza ssente z’omuwi w’omusolo. 

Oluvannyuma baamusinzizza amaanyi ne bagenda abatendesi bataano n’omusawo omu. Abaagenze kuliko; Mutebi, Ssimbwa, Badru Kaddu, John Luyinda ne Daniel Kiwanuka.

“Tekikola makulu omutendesi okukalambira atambule ne ttiimu ye ey’abantu mwenda. Bonna bagenda kukola ki? Okwo kuba kudiibuuda ssente ate ezandibadde zikozesebwa mu kutambuza emirimu gya kiraabu emirala. Omwaka oguwedde twagenda mu mpaka ze zimu ng’omutendesi ali ne banne basatu ne bakola omulimu omulungi,” omukungu ataayagadde kwatuukirizibwa mannya bwe yategeezezza.

Ku Ssande, KCCA lw’eggulawo empaka, ne Azam omuli George Nsimbe eyali atendeka KCCA ssaako eyali omuwuwuttanyi Brian Majwega. KCC yasemba okuwangula ekikopo kya CECAFA mu 1978.

Omwaka oguwedde KCCA FC yakubwa El Merriekh ku semi.
Mu mipiira gy’omukwano gye bazannye, bawanguddeko esatu (Masavu 1-0, Proline 5-0 Naguru Select 2-0) ete ne bakubwa Kobs 1-0 ne Kamwokya 3-1 n’okulemagana ne Kobs 0-0 mu gwasooka.

Ku Ssande, KCCA FC ezannya ne bannyinimu aba Azam eya Tanzania nga balwana okweggyako ekikwa ky’emyaka 37 nga tebawangula kikopo kino.

Waliwo ebintu bingi ebikyuse mu ttiimu eno, okuli n’abatendesi era KCCA FC eyolekedde akaseera akazibu bw’eba yaakusitukira mu kikopo kino. Ebyafaayo by’empaka zino tebigyeyimirira kuba wadde ebadde etera okwetaba mu kikopo kino, yaakamala emyaka 37 ng’ekikonga lusu. Wabula ng’oggyeeko ekyo, ne ttiimu erina obunafu mu bitongole ebyenjawulo, era zino ze zimu ku nsonga eziyinza okulemesa KCCA FC okukola obulungi;

ABAZANNYI ABAPYA:

Mutebi olwatwala omulimu n’agula abazannyi 12. Kino kitegeeza nti abadde nabo ebbanga ttono, nga si kyangu okuba nga bakwataganye okutuusa okuzannya omupiira ogwokulabagana nga bwe kyetaagisa.

OMUTEEBI OWE NTOMO:

Mu CECAFA ewedde, KCCA yalina Brian Umony ne Herman Wasswa nga balina obumanyirivu mu mpaka zino, kyokka bw’otunuulira Shaban Kondo, Derrick Nsibambi ne Ivan Serunkuuma kizibu okubayimirirako okukufunira ggoolo, naddala mu mpaka nga zino ezisuubirwa okuba eza vvaawompitewo. Bonna tebazannyirangako wamu, kuba buli omu abadde mu ttiimu yiye nga kiyinza okuba ekizibu okukwatagana amangu.

OBUMANYIRIVU MU MPAKA:

Abazannyi baayo abasinga tebalina bumanyirivu mu mpaka zino bw’ogeraageranya n’ezimu ku ttiimu ze bagenda okuvuganya nazo. Ku bano kuliko; Ivan Ntege, Hakim Ssenkumba, Owen Kasule, Ssaka Mpiima, Habib Kavuma, Joseph Ochaya ne Tom Masiko. Kino bw’okigatta ku ky’okuba nti tebannakwatagana bulungi, olabira ddala obuzibu Mutebi bw’ayolekedde.

NAMUZIGA WA TTIIMU:

Mu KCCA FC temuli muzannyi alina kitone kyanjawulo kugitaasa mu kaseera kazibu, ate kino buli bwekibula mu ttiimu, omupiira bwegukona tewali agyetikka. Mu KCCA FC temuli muzannyi alinga Brian Majwega, eyalabanga ng’oluusi omupiira gukonye n’akolawo ekyenjawulo.

OBUMANYIRIVU BW’ABATENDESI:

Mike Mutebi ne Sam Ssimbwa bombi batendesi abaludde era abalina obumanyirivu mu mupiira, era bazze batendeka ttiimu ez’amaanyi, kyokka empaka zino zikyabeesambye. Wadde Ssimbwa yali atendeseeko ku ttiimu ng’eri mu CECAFA, guno gwe mulundi gwa Mutebi ogusooka okutendeka empaka zino.

lEngeri abazannyi abasinga gye bali abapya, kizibu okumanya ttiimu ya Mutebi entuufu, ekitegeeza nti buli anaateekebwa mu kisaawe ajja kufiirawo okulaba ng’asigala mu ttiimu, ekiyinza okubayamba okulinnyisa omutindo.

Abazannyi abagenze kuliko; Benjamin Ochan, Emmanuel Opio, Denis Okot, Sakka Mpiima, Martin Mpuuga, Hassan ‘Dazo’ Wasswa, Farouk Matovu, Joseph Ochaya, Timothy Awani, Habib Kavuma, Tom Masiko, Muzamir Mutyaba, Mike Birungi, Ivan Ntege, Hakim Senkumba ne Owen Kasule.

Abalala ye Shaban Kondo, Derrick Nsibambi, Daniel Nsubuga ne Isaac Sserunkuma.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

KCCA FC erumbye Z mu mpaka za CECAFA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...