TOP

Kabaka agguddewo egy'Ebika Engabi n'egaayagaaya Ekkobe

Added 27th July 2015

BAZZUKULU ba Nsamba (Abengabi Ensamba), abaasooka okuwangula emipiira gy’Ebika lwe gyaddamu mu 1987, baabinuse masejjere eggulo bwe baavudde emabega okuyunga aba Namwama (Abekkobe) ne babawandula mu mpaka z’omwaka guno.

Bya STEPHEN MAYAMBA 

Kkobe 1 (3) Ngabi 1 (2)

Leero e Nakivubo:

Nsuma - Ngeye, 8:30

Njobe - Nkusu, 10:30

BAZZUKULU ba Nsamba (Abengabi Ensamba), abaasooka okuwangula emipiira gy’Ebika lwe gyaddamu mu 1987, baabinuse masejjere eggulo bwe baavudde emabega okuyunga aba Namwama (Abekkobe) ne babawandula mu mpaka z’omwaka guno.

Baawangulidde mu kakodyo ka peneti (ggoolo 4-2) oluvannyuma lwa ttiimu zombi okulemagana (1-1) mu ddakiika 90.

Ensiitaano yabadde mu kisaawe ekyabbulwamu Ssekabaka Muteesa II eky’e Wankulukuku.

Gwabadde mupiira gwa kaasammeeme ogwanyumidde abantu abaabadde abasaamusaamu. Bano baasoose kuwa Kabaka mizira bwe yassambye omupiira ng’agiggulawo.

Ekkobe, eryawangula empaka zino mu 2008, lye lyasoose okuteeba, Abbas Mutumba bwe yaliteebedde mu ddakiika ey’e 15.

Lyayongedde okusona Engabi obukeeka kyokka emikisa gy’okuteeba ne girama abateebi baayo naddala Livingstone Kawuma ne Andrew Mutumba.

Mu kitundu ekyokubiri, Engabi yazze emazeeko n’enyiga Ekkobe okutuusa Moses Ndaula lwe yateebye ey’ekyenkanyi ng’ebula eddakiika mukaaga guggwe.

Wano Ekkobe lyasigalidde kwetaasa bwetaasa ng’Engabi erifuukidde omuteego era ffirimbi ya ddiifiri Ali Mpanga ekomekkereza omuzannyo lyagisaze ku muguwa.

Nga bagenze ‘mu bunnya’, Muhammad Kayongo ne Andrew Mutumba baayiyeeyo Ekkobe bwe baalemeddwa peneti sso nga Joseph Yiga, Douglas Muganga, Swaib Mudde ne Haruna Mulindwa baateebye ez’Engabi wadde nga Ndaula eyabateebedde mu 90 naye baamukutte.

Abengabi baagenze bayeeya Abekkobe nti, “Bulijjo omukyala y’asooka okukomba ku nva.”

Leero e Nakivubo, Ensuma ettunka n’Engeye n’oluvannyuma Enjobe ebulonde n’Enkusu.

Kabaka agguddewo egy’Ebika Engabi n’egaayagaaya Ekkobe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.