TOP

Bengo eyali emmunyeenye ya Villa ne Cranes adibye!

Added 4th August 2015

ABAZANNYI bana ku 12 abaagobeddwa SC Villa bakyabuliddwa kiraabu nga n’omu, Steven Bengo, aba Express baamugobezza omukungu eyabadde amututteeyo.

 

Bya HUSSEIN BUKENYA

ABAZANNYI bana ku 12 abaagobeddwa SC Villa bakyabuliddwa kiraabu nga n’omu, Steven Bengo, aba Express baamugobezza omukungu eyabadde amututteeyo.

 Bengo, eyaliko kapiteeni wa Villa, Fahad Kawooya, eyali kapiteeni wa KCCA n’asalwako ne yeegatta ku Villa sizoni ewedde, Omunigeria Victor Emanyo ne Chrizestom Ntambi, eyasambirako e Vietnam, bakyabuliddwa ttiimu ebatwala okuva bwe baasaliddwaako Villa ku nkomerero ya sizoni.

Bengo, azannya ng’omuwuwuttanyi, omutendesi wa Express, Wasswa Bbosa yamusimbidde ekkuuli bwe yatwaliddwaayo omu ku bakungu baayo.

Bbosa yategeezezza nti wiiki ewedde, Lawrence Kato, naye eyakomyewo mu Express oluvannyuma lw’ebbanga eddene, yamusabye ayongere Bengo, Kirabira ne Karim Ndugwa (bonna baavudde mu Villa) mu ttiimu n’abagaana nti  omutindo gwabwe tegutuuka bazannyi b’alina.

Kato yakkirizza nti yawa bakulu banne ekirowoozo ky’okwongera Bengo mu ttiimu nti kyokka bamwambalira bwambalizi nga bamubuuza nti, “Oleeta otya omuzannyi wa Villa, eyatuvuma nga tubazannya? Munoonyeze ttiimu endala.”. 

Ye Bengo yagambye nti Express agyagala era singa emuwa ssente ze yeetaaga agizannyira. Abamu ku baasaliddwaako Villa abafunye ttiimu ye; Musa Doka (Simba), Derrick Walulya ne Augustine Nsumba (BIDCO), Nicolas Sebwato (Coastal Union eya Tanzania) ne Isaac Kirabira (Saints FC).

Agava mu Saints, abaakeesogga ‘Azam Uganda Super League’, galaga nti bateesa ne Kawooya sso nga Ntambi yagenze South Afrika kunoonya ttiimu emutwala.

Karim Ndugwa, eyabadde akomyewo mu Villa oluvannyuma lwa AFC Leopards eya Kenya okumusalako, kigambibwa nti Omuzungu Antonio Flores, atendeka Villa yamugobye nti tayagala basambi bakuliridde.

 

Bengo eyali emmunyeenye ya Villa ne Cranes adibye!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...