TOP

'Semata akaluba nga musumaali'

Added 19th August 2015

OMUTENDESI w’ensambaggere, Bricks Diamond Blain, awaanye Umar Semata nti, “Nnaalabye abazannyi abakaluba ate nga bamanyi kye bakola, ono ayitiridde!” Bino yabyogeredde Lugogo mu jjiimu ng’atendeka Semata, alinze okuttunka ne Piotr Lagodzki, enzaalwa y’e Australia, mu lulwana lw’omusipi gw’ensi yonna ogw’obuzito bwa Light Welter. Olulwana luno olwa nga September 4 ku Hotel Africana, lwe lumu ku ttaano ezitegekeddwa aba Lash Media ne Sipapa Global Entertainment.

Bya SILVANO KIBUUKA

OMUTENDESI w’ensambaggere, Bricks Diamond Blain, awaanye Umar Semata nti, “Nnaalabye abazannyi abakaluba ate nga bamanyi kye bakola, ono ayitiridde!”

Bino yabyogeredde Lugogo mu jjiimu ng’atendeka Semata, alinze okuttunka ne Piotr Lagodzki, enzaalwa y’e Australia, mu lulwana lw’omusipi gw’ensi yonna ogw’obuzito bwa Light Welter. Olulwana luno olwa nga September 4 ku Hotel Africana, lwe lumu ku ttaano ezitegekeddwa aba Lash Media ne Sipapa Global Entertainment.

“Okuggyako entaanya, siraba Semata bw’akubwa kuba omusajja akaluba nga musumaali ate wa bukodyo bungi. Oyo Omuzungu bw’anaamalako laawundi ebbiri ajja kuba azannye nnyo kuba Semata si mmere!,” Bricks bwe yagasseeko. 

Yagambye nti ky’asoose okukola ku Semata kwe kumutereeza embeera ez’obuntu.

“Okuteeka omuzannyi mu mbeera eno kitegeeza okumusobozesa omubiri gwe okukola ky’aba ayagala. Oyinza okubeea fiiti naye ng’omutima gwagala okukolayo akakodyo naye ng’omubiri tegusobola,” Bricks we yategeezezza n’agamba nti kino kibula nnyo mu bazannyi ba Uganda ate nga n’abatendesi bangi tebabifaako.

Semata agenda kukwatagana ne Piotr Lagodzki okuva mu Australia nga ataasa engule ya WKF eya Mauthai mu buzito bwa Lt. Welterweight.

Abalwanyi bonna abagenda okusindana bali mu kubangulwa okw’amaanyi.

“Tuleese abalwanyi n’okuva mu mawanga amalala okulaga Bannayuganda nti ddala omuzannyo gw’ensambaggere awalala guli ku mutindo gwa waggulu. Mujje mu bungi okuwagira Semata n’abalala nga Sgt. John Tumukunde,” Alice Namatovu owa Lash Media bwe yategeezezza.

 

‘Semata akaluba nga musumaali’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....