TOP

Magumba 'bodaboda' annyuse

Added 22nd August 2015

ABAWAGIZI b’omupiira abaasubwa okulaba ku Hakim Magumba ‘Bodaboda’, Hassan Mubiru ne Andrew Mukasa nga beeriisa enkuuli mu SC Villa, leero (Lwamukaaga) mufunye omukisa ogusembayo okuboota obuliro mu kisaawe e Nakivubo.

Bya HUSSEIN BUKENYA


Leero (Lwamukaaga) e Nakivubo:

USPA XI - Villa Fans 8:00

Magumba XI - SC Villa, 10:30 Ebisale: 10,000/-

ABAWAGIZI b’omupiira abaasubwa okulaba ku Hakim Magumba ‘Bodaboda’, Hassan Mubiru ne Andrew Mukasa nga beeriisa enkuuli mu SC Villa, leero (Lwamukaaga) mufunye omukisa ogusembayo okuboota obuliro mu kisaawe e Nakivubo.

Bonsatule bagenda kubeera mu mupiira ogw'ebyafaayo, Magumba, eyaliko emmunyeenye ya Villa ne Cranes, gw'agenda okunnyukirako omuzannyo guno gw'amazeemu emyaka 20.

Mubiru, Musaka ne Magumba baali mu Villa eyakukumba ebikopo mu gy'e 90 ne 2000 era ng'enkwatagana yaabwe abawagizi baagibbulamu 'Mu-Mu-Ma attack' nga bagisala ku nnyukuta ebbiri ez'amannya gaabwe agasooka.

Omupiira guno, Magumba alonze ttiimu ya mikwano gye enfiirabulago omuli n'aba ttiimu endala b'amatira mu kucanga akapiira, ng'eno egenda kuttunka ne SC Villa eriwo.

Gwakutandika ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo nga waakusookawo ogwa ttiimu y'abaaamawulire abasaka ag'emizannyo (USPA) n’ey'abawagizi ba Villa ku 8:00.

Abamu ku bazannyi abasuubirwa mu ttiimu ya Magumba ye Sam Kawalya, Andy Lule, Hassan Mubiru, Andrew Mukasa, Phillip Ssozi, Abubaker Tabula, Willy Kyambadde, Nestroy Kizito, Abdallah Mubiru ne George Ssimwogerere.

Abalala y'eyaliko kapiteeni wa KCC ne Cranes, Ibrahim Sekaggya, David Obua, Morley Byekwaso, Joseph Mutyaba, Edgar Watson, James Odoch ne Jackson Mayanja. Ttiimu eno yaakutendekebwa Asuman Lubowa ne Jimmy Muguwa.

Magumba azannyidde emyaka 20 mu Iganga TC, Villa, Atraco, Kira Young n’awangula ebikopo 31. Omukolo guno gusuubirwa okubaako abayimbi nga bakulembeddwa Eddie Kenzo nga Minisita w’Ebyemizannyo, Charles Bakabulindi n’omumyuka wa pulezidenti wa CECAFA, Lawrence Mulindwa baakugubaako.

 

Magumba ''bodaboda'' annyuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...