TOP

Abawagizi bwe bateefuga Villa nja kugisuulawo - Misagga

Added 27th August 2015

OKUKUBWA Bright Stars ku mupiira gwabwe ogwasoose mu Azam Uganda Premier League, kisiikudde abawagizi ba SC Villa emmeeme ne basaba abakulira ttiimu yaabwe babannyonnyole lwaki yazannye bubi.

Bya BASASI BAFFE


OKUKUBWA Bright Stars ku mupiira gwabwe ogwasoose mu Azam Uganda Premier League, kisiikudde abawagizi ba SC Villa emmeeme ne basaba abakulira ttiimu yaabwe babannyonnyole lwaki yazannye bubi.

Ku Lwokubiri, Bright Stars yawangudde Villa (1-0) e Mwereerwe mu Wakiso, abawagizi ne balumba pulezidenti wa ttiimu, Ying. Ben Misagga n’akulira emirimu, Ivan Kakembo mu busungu kyokka poliisi n’eyanguwa okubasalako.

Abamu ku bawagizi bakira balumiriza Kakembo okuba omuwagizi wa KCCA FC nti ye yawabya Misagga okweggyako abazannyi abaabawangulira ‘Uganda Cup’ sizoni ewedde olwa kye baayise Kakembo obutayagaliza ttiimu birungi.

Poliisi olwaggyeewo Kakembo, abawagizi kwe kukyukira Ben Misagga ne bamusaba agobe Kakembo nga bagamba nti y’aleese emivuyo mu ttiimu.

MISAGGA AYANUKUDDE
Ng’atuukiriddwa Bukedde, Misagga, eyabadde omukambwe, yalabudde nti abawagizi bwe baba balemeddwa okwefuga n’okuguminkiriza, agenda kuyita ttabamiruka abaddize ttiimu yaabwe.

Yagasseeko nti afubye okukola ebintu ebissa Villa ku mutindo kyokka abawagizi bamulemesezza n’atiisa nti, “Singa tebeddako ntuuse okubaddiza ttiimu yaabwe”.

“Ekyaggya Hajji Mandela ne Muwema ku ttiimu baali bawagizi nga na kati batandise. Sigenda kukkiriza mbeera eyo kuba nnina ebyokukola ebirala,” bwe yayombye n’ajuliza nti, “Omwaka oguwedde twakubwa emipiira ebiri ne tumalira mu kyokubiri, kati lwaki abawagizi bagamba nti okukubwamu tukoze bubi?”

Yasabye abawagizi bawe abatendesi Abazungu obudde nti ye abalinamu obwesige bw’okuwangula ebikopo nti n’ekirala abazannyi bapya bakyazimba bazimbe. Yawolerezza Kakembo nti talina nsobi naye abawagizi tebaguminkiriza.

ABAMYUKA BALI WAZIBU
Misagga yagambye nti abamyuka abatendesi, Phillip Obwiny ne Ibrahim Kirya be bakyalemeddwa okuyamba Abazungu Antonio Flores ne Francisco Martinez n’agamba nti ajja kubatereeza.

 

Abawagizi bwe bateefuga Villa nja kugisuulawo - Misagga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...