Bya HUSSEIN BUKENYA
OMUZIBIZI Richard Kasagga, akkiriza okusasula KCCA FC obukadde mukaaga bwe yamuwa ng'agyeggatako mu
June w'omwaka guno kyokka n'atagizannyira.
Ku Mmande, URA yayanjudde Kasagga ne kireetawo okusika omuguwa ne KCCA FC ng'egamba nti Kasagga alina endagaano nabo nti era URA emuguze mu bukyamu. Ensonga zino zaatwaliddwa mu FUFA eyabatawuluzza.
Ssentebe wa KCCA FC, Julius Kabugo yategeezezza nti, FUFA yayingidde mu nsonga zino era Kasagga ne URA ne bakkiriza
okusasula ssente era kati wa ddembe okuzannyira URA.
Kasagga bwe yatuukiriddwa yakakasizza nga bwe yakkaanyizza ne KCCA abaddize obukadde mukaaga bwe yabaggyako. “Bakama bange aba URA baatudde ne KCCA ne bakkiriziganya okubaddiza ssente era ku ssente z'endagaano gye
nakoze ne URA kwe bagenda okutoola bawe KCCA,” Kasagga bwe yategeezezza.
Wabula omuwandiisi wa URA, Henry Mayeko yategeezezza nti, "Entegeeragana eno mbadde sinnagimanyaako naye kyandiba
nga ssentebe wa ttiimu, Ali Ssekatawa y'ali mu nsonga ze. Ku Lwokutaano mu liigi, Kasagga yazannyidde URA.
URA ''bagisesemezza'' ssente za Kasagga