TOP

Sekandi asiimye abajjumbidde emisinde gya Cancer

Added 30th August 2015

OMUMYUKA wa pulezidenti Edward Kiwanuka Sekandi asiimye enkumi n’enkumi za Bannayuganda abawaddeyo era n'ebefiiriza otulo okudduka mu misinde gy’okusonderako ensimbi z’okuzimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo.

Bya STEPHEN MAYAMBA

OMUMYUKA wa pulezidenti Edward Kiwanuka Sekandi asiimye enkumi n’enkumi za Bannayuganda abawaddeyo era n'ebefiiriza otulo okudduka mu misinde gy’okusonderako ensimbi z’okuzimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo.

Sekandi ye yabadde omugenyi omukulu ku misinde egyawomeddwamu omutwe bammemba b’ekibiina kya Rotary era nga Dr. Louis Kasekende omumyuka wa Ggavana wa bbanka enkulu eyabadde omuddusi omukulu ye yasimbudde abaddusi mu biti bisatu; kilomita etaano, kilomita ekumi ne kilomita 21 ku ssaawa emu ez’okumakya ku sande nga August 30, 2015 ku kisaawe e Kololo.

Abamu ku beetabye mu misinde nga bali mu kutendekebwa

“ Mwebale nnyo aba Rotary wamu nammwe abaddusi. Olw’okuba mwe waadi ya kansa yasobola okuzimbibwa mu ddwaliro e Nsambya era kati ekola. Omwaka guno n'ebaza Emmanuel Katongole (ssentebe Rotary akulira etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo) olw’okuwoma omutwe mu nteekateeka eno egenda okutaasa obulamu bw’abantu enkuyanja.” Bwatyo Sekandi bwe yagambye.

Yayongeddeko nti kansa bwe bumu ku bulwadde obusinga okutta Bannayuganda ensangi zino era abantu kye baakoze okusonda ensimbi kiyitirivi obulungi ne batadda mu kuwoza bya ‘gavumenti etuyambe’ nti era kye bakoze kya buzira. 

Katongole yategeezezza nti babadde netaaga akakadde kamu n’emiwalo asatu egya doola era nga babadde balinawo emitwalo 20 gyokka egya doola nti era ensimbi zonna ze babadde bafunye mu misinde gino bakakasa nti nyingi era omulimu bagenda kugutandikako kwe banayongereza ebintu ebirala bye banategeka okugyamu ensimbi ezimaliriza okuzimba etterekero.
 

Sekandi asiimye abajjumbidde emisinde gya Cancer

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...