TOP

Pulezidenti asasudde omusaala gwa Micho gwa myezi 3

Added 6th September 2015

EGGULO ku Lwomukaaga, Cranes yasambye Comros mu mpaka z''okusunsulamu abaneetaba mu za Afrika.

Bya Rogers Mulindwa

EGGULO ku Lwomukaaga, Cranes yasambye Comros mu mpaka z'okusunsulamu abaneetaba mu za Afrika.

Ttiimu yabadde eremereddwa okugenda okutuusa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lwe yagiwadde doola 210,000 (obukadde 756 eza Uganda).

Pulezidenti yabadde adda mu kusaba kwa pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo. Pulezidenti yagambye nti ayagala nnyo okulaba ng'omupiira gukulaakulana. 

Wano we nsabira Magogo n’olukiiko lwe obutamalaamu Gavumenti maanyi nga bakozesa ensimbi zino bulungi nga bwe zaalambikiddwa.

Pulezidenti yawadde buli musambi doola 1,500 (5,400,000/-) era baagenze 30. Kijja kulabika bubi nga tezibaweereddwa.

Omutendeesi Micho yaweereddwa doola 2,000 (7,200,000/-). N'abamyuka be nabo baafunye ensako yaabwe.

Okwewala eby'okwekwasa, Pulezidenti yakkiriza okusaba kwa Magogoo okuweereza ekibinja ekyasooseeyo okuketta embeera nga bano baaweereddwa doola 5,000.

Ebyensula n’okulya nabyo yabikozeeko ne tikiti z'ennyonyi ez'ekibinja ky'abantu 30. Abagusambira ebweru, Pulezidenti yabateereddewo doola 22,500 (81,000,000/-) okubatambuza era n’omusaala gw’omutendesi Micho gwa myezi esatu gwasasuddwa.

Njagadde Bannayuganda mumanye ensonga zino kuba oluusi tezivaayo bulungi ate ne munenya Gavumenti obutafaayo ku byamizannyo.

Njozaayoza akakiiko ka FUFA ne Pulezidenti olw’okuwulira okukaaba kwaffe nga bannabyamizannyo n'atudduukirira.

Nga bannabyamizannyo, ‘akuwa gw'owa’ n’olwekyo tusiime ebitukolerwa gavumenti yaffe naffe tugiwagire mu ntambuza yaayo ey’emirimu

 

Pulezidenti asasudde omusaala gwa Micho gwa myezi 3

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa (mu kiteeteeyi ekya kyenvu) n'abakyala be yabadde asisinkanye.

Abakyala basabye Museveni a...

SSENTEBE w'obukiiko bw'abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asabye gavumenti okubongera ssente kibayambe okwongera...

Abamu ku bamulekwa ba Ssentamu nga boogera mu kuziika kitaabwe.

Baganda ba Bobi Wine batabu...

EBYOBUGAGGA bya taata wa Bobi Wine bitabudde abaana ne batwala bannaabwe mu kkooti nga bagamba  nti  baagala kwekomya...

Joseph Kasibante ng'annyonnyola.

'Tusaba Gavumenti eyimirize...

AB'EKITONGOLE ekirwanirira eddembe ly'abantu abasasula emisolo, ekya National Tax Payers Association bavuddeyo...

Bobi

Ekitongole ky'omusolo kimez...

EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA kimezze Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine) mu musango gw'emmotoka ye etayitamu...

Magogo ng'ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire.

Nkomawo okwesimbawo ekisanj...

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka...