TOP

Misagga aleese Anyau ayambe ku Bazungu

Added 7th September 2015

WADDE pulezidenti wa SC Villa, Ying. Ben Misagga bwe yali ayanjula omutendesi Omuzungu, Antonio Flores yategeezza ng’owa P.1 (Omuzungu) bw’asingira wala Omuddugavu owa P.7, eggulo (Ssande) yayanjudde Frank ‘Video’ Anyau okukulira abatendesi Abazungu.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Lwakubiri mu liigi ya Azam:

Victoria Univ - SC Villa e Namboole

WADDE pulezidenti wa SC Villa, Ying. Ben Misagga bwe yali ayanjula omutendesi Omuzungu, Antonio Flores yategeezza ng’owa P.1 (Omuzungu) bw’asingira wala Omuddugavu owa P.7, eggulo (Ssande) yayanjudde Frank ‘Video’ Anyau okukulira abatendesi Abazungu. 

Ku mukolo ogwabadde ku Villa Park, Misagga yategeezezza nti Flores n’omumyuka we, Francisco Martinez balina okukolera wansi wa Anyau kuba  alina obumanyirivu obusobola okuyamba Villa okuwangula ebikopo bye yeetaaga.

“Ssemateeka waffe atulagira okubeera n’akulira ebyekikugu kyokka tabaddeewo,nga kye kiseera Anyau okutwala ekifo kino,” Misagga bwe yategeezezza.

Mu kiseera kino,  Anyau talina ttiimu gy’atendeka, kyokka ye mumyuka wa Micho ku ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 23.

Kati Villa etendekebwa abatendesi mukaaga; Flores ,Martinez, Ibrahim Kirya, Phillip Obwiny, Phillip Ssozi, Vally Mugwanya ne Anyau naye asuubirwa okubyenyigiramu nga Obwiny bwabadde akola. 

Mu ngeri  y’emu abazannyi Fahad Muhammad Tokkwo ne  Karim Ndugwa basuubirwa okuzannyira Villa bwenaaba ettunka ne Victoria University ku Lwokubiri, oluvannyuma lwe FUFA okubawa layisinsi ezibakiriza okuzannya. 

Misagga aleese Anyau ayambe ku Bazungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Muwanga Kakooza

Bakungubagidde Kakooza owa ...

MUNNAMAWULIRE wa Bukedde, Daniel Muwanga Kakooza, aziikiddwa e Ssanga mu ggombolola y'e Gombe ku lw'e Semuto. ...

Biden ne Trump

Trump apondoose; amagye gat...

AMAGYE ga Amerika n'ebitongole ebikessi bitandise okuwa Joe Biden ebyama oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump...

Sheikh Muzaata

Embeera ya Muzaata mu ddwaa...

OBULWADDE obuluma Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwazze nga musujja okukkakkana ng'ali ku kitanda mu IHK Kampala. Assiddwa...

Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.

Minisita atongozza olukiiko...

Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abayiiya...

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Museveni alaze by'agenda ok...

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale...