TOP

Anyau asabye abawagizi ba Villa okubeera abaguminkiriza

Added 8th September 2015

OLUVANNYUMA lw’okukoonola ogufo gw’okukulira eby’ekikugu mu SC Villa, Frank ‘Video’ Anyau asabye abawagizi okuwa abatendesi kati b'akulira, obudde bayige omupiira gwa Uganda olwo batandike okukukumba ebikopo.

Bya STEPHEN MAYAMBA

OLUVANNYUMA lw’okukoonola ogufo gw’okukulira eby’ekikugu mu SC Villa, Frank ‘Video’ Anyau asabye abawagizi okuwa abatendesi kati b'akulira, obudde bayige omupiira gwa Uganda olwo batandike okukukumba ebikopo.

Pulezidenti wa Villa, Ben Misagga yaleeta Abazungu Antonio Flores n’omumyuka we, Francisco Martinez okusikira Ibrahim Kirya eyabayamba okuwangula ‘‘Uganda Cup n’okumalira mu kyokubiri mu liigi sizoni ewedde, ku butendesi. Kirya, Philip Ssozi wamu ne Philip Obwiny baasigala kuyamba ku batendesi Abazungu.

Wabula oluvannyuma lw’omutindo gwa ttiimu okugaana okumatiza ku ntandikwa ya sizoni eno, Misagga yaleese Anyau ayambeko abatendesi bano ku nsonga z’ekikugu era nga baakukolera wansi we. Okuva sizoni bwe yatandika, Villa efunye akabonero kamu kokka mu mipiira ebiri egisoose. Yakubwa Bright Stars, n’eremagana ne URA FC e Nakivubo.

Ku Ssande nga September 6, Misagga lwe yayanjudde Anyau mu butongole. Anyau ye mumyuka wa Micho ku butendesi bwa Kobs (ttiimu y’eggwanga eyabatasussa myaka 23).

“Abawagizi basaanye okubeera abakakkamu bawe abatendesi obudde kubanga bapya ate n’abazannyi be balina bonna kumpi bapya, nga kigenda kubeetagisa obudde okumanyiira n’okukwatagana, SC Villa etandike okuvuganya obulungi ku bikopo,” Anyau bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okutendekebwa ku Mmande nga September 7 ku kisaawe kya Villa Park e Nsambya.

Anyau asabye abawagizi ba Villa okubeera abaguminkiriza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...