TOP

Semata aweze okumegga Omuzungu

Added 8th October 2015

OMUZUNGU, Piotr Lagodzki, enzaalwa y’e Australia, alaalise Umar Semata nti yeerabire obuwanguzi enkya (Lwakutaano) bwe banaaba battunka mu nsambaggere

Bya FRED YIGA 

OMUZUNGU, Piotr Lagodzki,  enzaalwa y’e Australia, alaalise Umar Semata nti yeerabire obuwanguzi enkya (Lwakutaano) bwe banaaba battunka mu nsambaggere

Lagodzki yagambye nti ng’oggyeeko obumanyirivu, yeesiga likodi ye ey’obutawangulwa ku bugenyi, n’agattako nti wadde ne Semata mulungi, naye tamwenkana.

“Semata mmuwa ekitiibwa kubanga mulwanyi mulungi, era ne mu Thailand bamussaamu ekitiibwa, naye likodi y’okuwangula ku bugenyi ngirina, wadde gwe mulundi gwange ogusoose okuzannyira  mu Afrika,” bwe yategeezezza bannamawulire ku wooteeri ya MT Zion esangibwa mu Kampala eggulo.

Semata, nga ye kyampiyoni w’ensambaggere mu Uganda mu buzito bwa Super welter (kkiro 69.5) yamwanukudde nti asaaga n’asuubiza okweddiza omusipi guno ogw’ensi yonna ateekewo likodi ya Munnayuganda asoose okugweddiza. 

 

Bagenda kuttunka mu lulwana lw'ensi yonna olwa International Boxing Gala (IBG) ku Hotel Africana ku enkya (Lwakutaano).  

 

Semata aweze okumegga Omuzungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Omuwendo gw'abaana abakabas...

  EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera...

Kalinge

Avunaaniddwa lwa kusaba sse...

OMUKOZI mu minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako omusango gw'okusaba...