BYA SILVNO KIBUUKA 8/10/2015
Olulwana Lw’omusipi gw’ensi yonna:
Umar Semata kiro 68.7 v Piotr Lagidzki kiro 68.7
Mu bikonde by’omusipi:
David Basajjamivule (Ug) v Tineyi Mardizo (Zambia)
Abazannyi b’ensambaggere Umar Semata owa Uganda ne Piotr Lagodzki okuva mu Australia beenkanyizza kkiro mu kupimibwa ku Mt. Zion Hotel nga beetegekera okulwanira omusipi gw’ensi yonna ogwe World Kickboxing Federation mu mutendera gwa Mauythai mu nsitaano egenda okubeera ku Hotel Africana akawungezi ku Lwokutaano.
Olulwana luno lwakulagibwa butereevu ku Azam TV ku mukutu gwa Azam 1 ne Extra ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ku Lwokutaano.
Baapimiddwa nga kalabaalaba okuva mu kibiina kya World Kickboxing Federation Rosman Istvan alaba wamu n’abatendesi b’abazannyi bombi wakati mu bawagizi abaabadde abangi ddala mu woteeri eyo.
Abalwanyi bano buli omu yeeweredde munne mu bigambo bitono ddala ekirese abawagizi ku bunkenke nga balindiridde anaawangula.
Semata agambye akoowodde abantu bonna mu Uganda okweyiwa ku Hotel Africana okumuwagira ng’ataasa omusipi guno gwe yawangula omwaka oguwedde n’agamba nti gwa Bannayuganda.
“Olwa Independence lwe twefuga okuva mu Bangereza.
Tulina okulaga Omuzungu ono nti tateekeddwa kuwangula naddala olunaku bwe lukwataganye n’olwameefuga,” Semata bwe yategeezezza. “Nakimye buwanguzi,” Lagodzki bwe yategeezezza.
Abazannyi abalala abagenda okulwana mu nsambaggere ye Ncebo Ngomba (S.A) ne Samir Sakhi (Morocco), John Tumukunde (Ug) ne Michael Lavi (Ken) wamu ne Sharif Bukenya ne Ramathan Walujo aba Uganda.
Mu bikonde, David Basajjamivule atiisizza okubuza Tineyi Maridzo owa Zambia erimuzza eka nga balwanira omusipi gwa East and Central mu buzito bwa Light Heavyweight.
Umar Semata owa Uganda ne Piotr Lagodzki okuva mu Australia beenkanyizza kkiro