TOP

Emisipi gyonna sigita-Semata

Added 9th October 2015

MUNNAYUGANDA Umar Semata n’Omuzungu Piotr Lagodski leero (Lwakutaano) bali butoola mu lulwana lw’omusipi gw’ensi yonna ogw’ensambaggere

Bya FRED YIGA


Leero (Lwakutaano) mu nsambaggere:
Semata (Uganda) - Lagodzki (Australia)
Ebisale: 20,000 ne 50,000/-

MUNNAYUGANDA Umar Semata n’Omuzungu Piotr Lagodski leero (Lwakutaano) bali butoola mu lulwana lw’omusipi gw’ensi yonna ogw’ensambaggere.

Semata, alwana okusigaza omusipi guno, agumizza Bannayuganda nti kikafuuwe Lagodski, okuva mu Australia okumuswaliza ku butaka. Bagenda kuttunka mu nsambaggere ez’ekika kya Muaythai mu buzito bwa Superwelter (kkiro 69.5).

Omuzungu mulwanyi mulungi naye sisobola kumukkiriza kumpangulira mu nsi yange. Mujje bangi era temuntimawa enduulu kuba hhenda kumukuba mumaleko essagaliko,” Semata bwe yaweze enkolokooto.

Olulwana luno luli ku Hotel Africana mu Kampala nga lutandika kawungeezi. Wagenda kusooka ennwaana eziwerako wakati wa Bannayuganda n’abagwira.

“Nneetaaga kimu kyokka bantu kujja mu bungi bampagire eby’okukuba Omuzungu babindekere kuba bayitiridde okutujooga mu buli kimu. Kya bulabe nnyo era kiswaza okwetegeka ennyo nga bwe nkoze ne bampangulira mu maaso g’abawagizi bange,” Semata bwe yagasseeko.

Wabula Lagodzki yalabudde Semata nti, “Siri mwangu naddala nga nkyadde. Abantu bangi mbaswalizza mu maaso g’abawagizi baabwe.”

alwana kubeera munauganda asoose okwediza omusipi gwa World Tittle atekewo likodi natawunyikamu era nga empaka zino zakulamulwa Isma Rosenda okuva e South Africa .

Empaka zino ezigenda okutandika saawa emu ey’akawungeezi oluvanyuma lw’abalwaanyi abali kumutindo gw’ensi yonna abagenda okusookawo okulaga kyebalinawo saako abayimbi abamaanyi mu Uganda.

Abalwaanyi abagenda okulwana kuliko Ncedo Gomba (Thailand ) agenda okuttunka ne Samir Sakhi (Morocco), David Basajja mivule atunke ne Tindei Mendozo(Zambia) ,John Tumukunde atunke ne Robert Nobertson, Sharif Bukenya atunke ne Ramathan Walujo ate nga abayimbi bakulembedwaamu Bobi Wine ,Raga dee,Sheeba Kalungi, ,Irene Ntale n’abalala ng’okuyingira 20,000 ne 50,000,200,000 ne 2,000,000.

 

Emisipi gyonna sigita-Semata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...

Abazannyi ba Gomba nga basanyikira emu ku ggoolo ezaateebeddwa Charles Bbaale (asitamye ku kkono).

Gomba ne Buddu zifungizza k...

BANNABUDDU n'abava e Gomba essanyu katono libaabye eggulo, ttiimu zaabwe bwe zeesozze semi y'empaka z'omupiira...

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

Aba P7 bafunye ebinaabayisa...

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE....

Omusumba Kisitu ng’amansira amazzi ag’omukisa ku ntaana ya Nankyama. Mu katono bwe yali afaanana.

Bajjukidde Ssaabasumba Nank...

OMUSUMBA w'Abasodookisi atwala ekitundu ky'obukiikakkono n'obuvanjuba bwa Uganda Silvestos Kisitu asabye abantu...