TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ben Lukwago asuubizza okuwangulira Uganda emidaali gy'okuzimbya emifumbi

Ben Lukwago asuubizza okuwangulira Uganda emidaali gy'okuzimbya emifumbi

Added 4th January 2016

Awangudde empaka za mr Uganda n'awera; Kati ndeetera Uganda midaali

 Ben Lukwago

Ben Lukwago

OLUVANNYUMA lw’okuwangula empaka za Mr. Uganda, Ben Lukwago okuva mu jiimu ya Be Active e Zzana, ategeezezza nga bw’agenda okutandika okulwanirira okwetaba n’okuwangula emidaali mu mpaka z’ensi yonna nga yeegatta ku Ivan Byekwaso ne Mubrak Kizito abaawangulidde Uganda emidaali mu mpaka z’ensi yonna omwaka oguwedde.

Lukwago agamba nti mu kiseera kino ng’amaze okuwangula empaka ezisinga amaanyi ge gonna agenda kugassa mu kutendekebwa okwakaasa mmeeme okulaba ng’awangula empaka z’ebweru kubanga asobola.

“Ndi musanyufu nnyo okulaba ng’ekirooto ky’okuwangula empaka zino nkituukirizza kubanga bulijjo malira mu kyakubiri oba kya kusatu kyokka olw’okukola ennyo n’obumalirivu bwennina nsobodde okutuuka ku buwanguzi era nga sigenda kudda mabega okuggyako okugenda mu maaso nvuganye e bweru era mpangule”, Lukwago bw’agamba.

Okutwala obuwanguzi buno yawangudde abazannyi abalala bataano abaawangudde obuzito obw’enjawulo omwabadde Faruk Mayiga owa Bantam eyakutte eky’okubiri , Lameck Muwanga owa Light weight, Andrew Kibuuka Welter, Vince Mwai owa Light Meddle ne Andrew Ssenoga.

Empaka zino zaategekeddwa Boroboro Tigers Sports Club mu Kibuga Lira nga January/01/2016 ng’abawangizi baasanyusiddwa kafulu w’emifumbi Ivan Bykekwaso eyakomya okuzannya empaka z’awaka ne Mubarak Kizito eyawangula empana z’ensiyonna ez’abayiga mu kibuga Dubai kyokka nga tezannye kuba yabadde mulwadde naye nga bazze ku siteegi n’ebalagamu obukoddyo bwe balina olwo emizira ne gitta abawagizi.

Empaka zino zaawabaddeko abagenyi okwabadde ssentebe w’akakiiko k’emizannyo John Bosco Onyik, Kaminsona w’emizannyo mu minisituleb y’emizannyo n’ebyengiriza Omara Apita, RDC wa Lira Emmanuel Mwaka Lutukomoi n’abalala era nga zaawagiddwa Gracious Palace Hotel Lira, Bbaasi za White Coaches ne Pauline Hotel.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...