TOP

SC Villa etunze Hassan Wasswa e Iraq

Added 4th January 2016

Villa etunze Hassan Waaswa obukadde 35 mu Iraq

 Hassan Wasswa (ku kkono) ng’attunka ne Willy Kavuma eyali kapiteeni wa Express sizoni ewedde.

Hassan Wasswa (ku kkono) ng’attunka ne Willy Kavuma eyali kapiteeni wa Express sizoni ewedde.

SC VILLA etunze omuwuwuttanyi Hassan Wasswa mu ttiimu ya Iraq eya Al Sharto ku ndagaano ya myaka ebiri.

 Al Sharto, Wasswa gye yeegasseeko ezannyira mu kibinja kya babinywera kyokka okugyegattako waasoose kubaawo

kusika muguwa wakati we ne bakama aba Villa abaabadde tebaagala kumuwa lukusa okugenda.

Pulezidenti wa Villa, Ying. Ben Misagga yategeezezza nti baali bagaanyi okuwa Wasswa ebbaluwa emukkiriza okuzannyira ttiimu endala kyokka

olw’okuba yeetonda baalabye nga tekiba kya bwenkanya kumulemesa era ne bakkiriza doola 10,000/- (eza Uganda obukadde 35) ze baabawadde.

“Ekikulu tetwayagadde ssente wabula Wasswa bwe yeetonze ate ne tukizuula nga bwe tumulemesa tujja kuba tumukotoggedde kuba eggwanga likyamwetaaga okulizannyira mu biseera ebijja nga naye yeetaaga okwongera ekitone

kye mu maaso,” Misagga bwe yategeezezza.

Obugulumbo bwa Wasswa ne Villa bumulemesezza n’okuzannya okuva sizoni lwe yatandika. Gye buvuddeko, yeetonze Villa n’emusonyiwa.

 Wasswa yategeeza nga bwe yali takyayagala Villa olw’okumenya endagaano ye ekyawaliriza akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa okuyingira mu nsonga ze esalewo eggoye.

 Wasswa, yayamba Villa okuwangula ekikopo kya Uganda Cup ssaako okumalira mu kyokubiri mu liigi.

VILLA YAYANJUDDE SSERUMAGA:

Mu ngeri y’emu, mu kaweefube w’okwenyweza nga beetegekera okuzannya empaka za CAF Confederattion Cup, Villa yamulinnyisizza, ku Lwokuna bwe yayanjulidde abawagizi omuwuwuttanyi Mike Sserumaga gwe yaggye mu Lweza.

Endagaano ya Sserumaga yabadde eweddeko mu Lweza era omutendesi wa Villa, Ibrahim Kirya yategeezezza nti ttiimu ye yeeyongedde okunywera naddala mu kitongole ekiwuwuttanyi era ttiimu za super zimwerinde nga liigi ezzeemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Amafuta' g'omusumba gaanzi...

GIFT Katusiime, 20, eyali atembeeya caayi mu Kampala ali mu kusoberwa okutagambika. Alumiriza omusumba gye yali...

Omukazi ampa ssente n'alina...

Nnina abakazi babiri ng’omu ndaba alina empisa era ava mu maka malungi. Omulala ansiga obukulu era akola ng’ampa...

Maj. Gen. Kyanda ng’ayogera n’aba LDU e Kakiri.

Aba LDU basabiddwa okulongo...

AKULIRA emirimu mu magye g’okuttaka, Maj.Gen. Leopold Kyanda, akyalidde abaserikale ba LDU e Kakiri, n’abakalaatira...

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...