
Pulaani y'ekisaawe nga bwe kigenda okufaanana
KCCA FC eyolekedde okubeera ttiimu egenda okusinza ekisaawe eky'omulembe mu Uganda okusinziira ku ntegeka ez'omu maaso ezaayanjuddwa aba kiraabu eno nga bakulirwa Executive Director wa Kampala Jennifer Musisi.
Ku nsonga eno KCCA bayise amakkampuni amanene okuli Total, MTN, Airtel, n'amalala okwegatta ku kiraabu nga bateekawo ensimbi ez'okuzimba ekisaawe.
Zino ze zimu ku ntegeka ezaayanjuddwa aba KCCA eri abawagizi, abavujjirizi b'ensimbi wamu n'ab'amawulire ku kijjolo ekyabadde ku Imperial Royal Hotel.
Entegeka zino zisuubirwa okugenda mu maaso oluvannyuma lw'okumaliriza ekisaawe eky'ekiwempe ekigenda okusooka mu Uganda okusambirwako emipiira gya liigi ekisuubirwa okumaliririzibwa mu February omwaka guno.
Ekisaawe ekipya kisuubirwa okubaako amaduuka, woteeri, wofiisi ez'omulembe, paakingi wamu ne Paviliyoni ku buli kudda lw'obuwanvu bw'ekisaawe n'ebipya ebirala bingi.
"Tunoonya amakkampuni aganaatuteekamu ensimbi era tumaze okugalaga we ganaafuniramu mu birango ku kisaawe. Omulimu gusuubirwa okutandika ekiseera kyonna nga tuzimbe akafo akafunda wabula nga kajjayo ekifaananyi kya Kampala ow'omulembe.
Twaguze ne yiika z'ettaka ttaano okuva mu Buganda Land Board e Kitebi nga kwe kujja okuba pulojekiti ezigaziyiddwa okutumbula eby'emizannyo mu mu kitongole kya KCCA
kifuuke endabirwamu ebitongole ebirala n'amakiraabu okulabirako," Musisi bwe yategeezezza.
Ekisaawe ky'ekiwampe kya KCCA Phillip Omondi Stadium kyali kisuubirwa okuggwa nga kissiddwako ekiwempe mu November wabula enkuba n'etataaganya emirimu nga kati kisuubirwa kuggwa mwezi gujja. Kino kyazimbibwa ku pulojekiti eyitibwa FIFA Challenge eyaweebwa eyali
Pulezidenti wa FIFA, Sepp Blatter gye yawa Uganda okutumbula emizannyo.