TOP

Simba eya Tanzania ewadde Mayanja obumyuka bw'omutendesi

Added 10th January 2016

Yategeezezza nti okubeera omumyuka mu Simba kisinga obutendesi obujjuvu mu Coastal Union kuba Simba erina ebigendererwa eby’omuzinzi okusinga ku bya Coastal Union.

 Mayanja

Mayanja

OMUTENDESI Jackson Mayanja asuddewo omulimu gw’obutendesi obujjuvu mu ttiimu ya Coastal Union eya Tanzania n’agenda mu Simba ey’eggwanga lye limu okumyuka omutendesi waayo omuzungu Dylan Kerr (Malta).

Mayanja, yeegatta ku Coastal Union ku ntandikwa ya sizoni eno n’akola endagaano ya myaka ebiri kyokka akozeeko emyezi mukaaga n’agyabulira. Gye buvuddeko, yafuna obutakkaanya n’abakulira Coastal Union ng’agamba nti abakulembeze baayo balina entalo kyokka oluvannyuma n’addayo.

Yategeezezza nti okubeera omumyuka mu Simba kisinga obutendesi obujjuvu mu Coastal Union kuba Simba erina ebigendererwa eby’omuzinzi okusinga ku bya Coastal Union.

Mayanja, abadde mu luwummula mu Uganda olwa ttiimu za Tanzania okwetaba mu mpaka za Mapinduzi Cup, eggulo yabitaddemu engatto okugenda e Tanzania okuteesa ku by’endagaano kyokka yakikkaatirizza nti tewali kigenda kumugaana kukola mulimu guno kuba bamaze akaseera nga bateesa naye era emisoso egisinga gyaggwa.

Yeegasse ku bazannyi Bannayuganda Murushid Juuko, Brian Majwega ne Diego Hamis Kiiza. “Mu Coastal Union tubadde n’obuzibu bw’obukulembeze era mbadde siyinza kugaana kukola mulimu mu ttiimu erimu emirembe nga Simba wadde ng’enda kubeera mumyuka,” Mayanja bwe yategeezezza.

Mayanja atendese ku; URA, Bunnamwaya (kati Vipers), KCC, Kagera (eya Tanzania), omumyuka w’omutendesi wa Cranes ne Coastal Union.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...