
Asuman Mugerwa owa Hiuma Heathens ng'akutte omupiira bwe babadde basindana ne Black Panthers mu liigi ku kisaawe kya Kyadondo. Baalemaganye 17-17. (ekif: Silvano Kibuuka)
Hima Heathens 17 Black Pirates 17
Betway Kobs 62 Warriors 08
Abakaazi:
Thunderbirds 28 Black Panthers 00
Liigi y’eggwanga eya Rugby etandise na bbugumu oluvannyuma lwa ba kyampiyoni b’omwaka oguwedde okusanga obuzibu okuwangula omuzannyo gwabwe ogusoose nga balemaganye ne Black Pirates abaakwata ekyokusatu.
Heathens ye yasoose okulya empanga n’eweza obubonero 10-0 mu ddakiika 20 ezaasoose wabula Pirates n’eva emabega ng’eyita mu bamusayimuto baayo; Haruna Mohammed ne Brian Ochan okuyunga Heathens eyamazeeko ekitundu ekisooka ng’ekulembedde 10-07.
Ekitundu ekyokubiri Pirates yateebye peneti ne basibagana 10-10.
Mu ddakiika ey'e 70, Heathens yateebye n’efuna obubonero 17 wabula yabadde ebula ttaano ne Pirates n’eyunga omuzannyo ogwalamuddwa ddiifiri Collins Mulindwa (amanyiddwa nga Afande Kerekere mu katemba) ne guggwa 17-17.
Bwe baasemba okusisinkana omwaka oguwedde, Heathens yawangula 17-12.
Ggwo ogw’abakazi tegwazannyiddwa abalina ekikopo aba Thunderbirds obubonero ne babufunira ku mukeeka Black Panthers bwe bataalabiseeko ne beekwasa okumanya mupiira guno ekikeerezi.
Enzannya endala zaabadde Gulu ne ku kisaawe kya Makerere University.
Enzannya za liigi ziddamu mu Lwomukaaga lwa wiiki ejja.