TOP

URA erwanira obukadde 34 mu Mapinduzi Cup

Added 12th January 2016

URA erwana kufuna doola 10,000 (mu za Uganda obukadde 34) eziweebwa omuwanguzi sso nga singa bagikubira ku fayinolo, yaakufuna doola 5,000 (mu za Uganda obukadde 17).

 Kisala

Kisala

Semi za Mapinduzi;

Yanga (3) 1-1 (4) URA

Simba 0-1 Mtibwa

Ekya ku fayinolo ya Mapinduzi:

URA FC - Mtibwa (Tanzania)

Omutendesi wa URA FC, Kefa Kisala atenderezza omutindo abazannyi be gwe baayolesezza nga bawangula Yanga eya Tanzania mu mupiira ogwanyumidde mu Amaan Stadium ekya Zanzibar mu Mapinduzi Cup.

Guno gwe mulundi gwa URA ogwokubiri okwetaba mu mpaka zino era ku Ssande, yawangudde Yanga (4-3) eza peneti oluvannyuma lw’edakiika e 90 okuggwaako nga basibaganye (1-1). Peter Lwasa ye yateebedde URA mu ddakiika y’e 78.

URA erwana kufuna doola 10,000 (mu za Uganda obukadde 34) eziweebwa omuwanguzi sso nga singa bagikubira ku fayinolo, yaakufuna doola 5,000 (mu za Uganda obukadde 17). Kisala yategeezezza nti okuwangula Yanga tekyagudde bugwi wabula baakikoleredde.

“Yanga bulijjo tugiraba ng’ezannya era twagenze okuyingira ekisaawe nga tumanyi obunafu bwayo naffe bwe twakozesezza okufuna ggoolo eyatuwadde obuwanguzi,” Kisala bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...