TOP

FUFA nayo enoonyereze ku Sam Ssimbwa

Added 18th January 2016

OMULANGIRA Sam Ssimbwa, amyuka omutendesi wa KCCA FC, bakama be baamuyimirizza nga bwe banoonyereza ku katambi akalimu eddoboozi eriwulikika ng’erirye nga yeewaana ‘okwagala ennyo KCCA ng’emirundi mingi akwata mu nsawo ye n’agulirira baddiifiri bagigemulire obuwanguzi nga ne bakama be tebamanyi.

  Omutendesi wa KCCA Sam Ssimbwa

Omutendesi wa KCCA Sam Ssimbwa

OMULANGIRA Sam Ssimbwa, amyuka omutendesi wa KCCA FC, bakama be baamuyimirizza nga bwe banoonyereza ku katambi akalimu eddoboozi eriwulikika ng’erirye nga yeewaana ‘okwagala ennyo KCCA ng’emirundi mingi akwata mu nsawo ye n’agulirira baddiifiri bagigemulire obuwanguzi nga ne bakama be tebamanyi.

Akatambi kano akasaasaanye ennyo ku mikutu gya WhatsApp ne Facebook, katadde ekitongole kya KCCA mu kattu kuba obubaka obukalimu bulaga nti ttiimu yaakyo eri ku ntikko ya liigi tewangulira mu mazima.

Kazze waakayita nnaku mbale nga nnankulu wa KCCA, Jennifer Musisi yaakeewaana nga bw’ayiye omusimbi mu ttiimu n’asaba Mike Mutebi ne Ssimbwa bakole ekisoboka Cranes ejjulemu bazannyi ba KCCA era ekukumbe n’ebikopo.

Ssimbwa, yaliko omumyuka w’omutendesi wa Cranes, atendeseeko SC Villa, Victoria University, Top TV, Health, UPDF, Malera, Military Police n’endala.

Ebweru wa Uganda, atendeseeko Sofapaka (Kenya) ssaako ATRACO ne Police ez’e Rwanda. Olumu, yawonyaako Express okusalwako n’olulala n’agiwangulira ekikopo kya liigi.

Obukugu bwe mu butendesi tebuliiko kabuuza kyokka ekibi, emirundi mingi ttiimu ze zibaddemu vvulugu n’obuvuyo bw’okuyiwa emipiira.

Mu 1993, yali mu KCC FC eyagambibwa okwegabula eri Express n’ewuttulwa ggoolo 6-0 n’ekigendererwa ky'okulemesa Villa okweddiza liigi! Mu 2004, yali mu Top TV n’eyiwa omupiira nga Express yaakagikuba ggoolo 2-0 e Nakivubo ekyawa Villa omukisa gw’okweddiza ekikopo kuba Express yali yeetaaga ggoolo nnya okugikiggyako! Mu 2007, yawonya Express okusalwako kyokka Iganga TC, eyaddayo, yeemulugunya nti baddiifi ri bagisalirizanga sso nga ne FUFA yagitimawa bwe yagisambisa emipiira egy’okumumukumu n’emalayo egyayo nga Express ebuzaayo etaano!

Sizoni ewedde, yali mu Villa omupiira gwayo ne Express e Mityana ne guyiika nga ddiifi ri Ronnie Kalema agulamula mu ngeri etaasiimibwa ba Express.

Abawagizi ba Villa bakimussaako nti bwe yagobwa mu ttiimu yaabwe, yawa URA ‘bwino’ eroope Villa okuzannyisa Waibi ng’alina kaadi ssatu sso ng'omupiira guno gwaliwo nga y’agiri mu mitambo!

Bino byonna biraga Ssimbwa nti aliko ebbala ebbi! KCCA yasuubizza okufulumya by’ezudde mu kunoonyereza ku katambi kano era tubirinze.

Okutuusa ng’etukakasizza nti eddoobozi erikalimu si lya Ssimbwa, tujja kukitwala nti emipiira egiwangulira mu kugulirira.

Naddala ng’awulikika nga nnyini ddoboozi azze yeetooloolera mu buvuyo.

FUFA nayo erina okusitukiramu okubuuliriza kuba Ssimbwa y’omu ku batendesi ab’erinnya mu Uganda nga bwe kiba nti ye nnyini ddoboozi eriri mu katambi, omupiira gwa Uganda guba mufu wamu ne baddiifiri.

kkawuma@newvision.co.ug 077237190

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...