TOP

Mulindwa alonze abasika ba Kyobe ne Kitandwe

Added 31st January 2016

Kitandwe, abadde ssentebe wa Vipers ne Kyobe abadde omuwandiisi waayo, baayimiriziddwa olw’ebigambibwa nti baajingirira ebiwandiiko ne batunda omuzannyi Joseph Mpande mu Horizon eya Maymar.

 Mulindwa

Mulindwa

Lawr ence Mulindwa, nnannyini Vipers SC alonze George William Mulindwa ne Simon Peter Njuba okusikira Thadeus Kitandwe ne Harunah Kyobe abaayimiriziddwa FUFA obuteenyigira mu mupiira okumala emyezi esatu.

Kitandwe, abadde ssentebe wa Vipers ne Kyobe abadde omuwandiisi waayo, baayimiriziddwa olw’ebigambibwa nti baajingirira ebiwandiiko ne batunda omuzannyi Joseph Mpande mu Horizon eya Maymar.

Wadde nga George William Mulindwa (ateekateeka ebisomesebwa mu ssomero lya St. Mary’s Kitende ne Njubi (omusomesa wa kompyuta) baalondeddwa mu bifo bino nga ba kiseera, ensonda zaategeezezza nti emirimu gino bandigitwalira ddala singa Kitandwe Kyobe emisango gibakka mu vvi.

FUFA ye yawadde Vipers amagezi okulonda abakungu abalala kuba bagenda kukiika mu za Afrika nga tekiba kyamagezi tttiimu egenda okukiika okubeera n’ebifo ebikulu nga bino.

Eggulo (Lwamukaaga), Vipers yazannyeemu omupiira gw’omukwano ne Tusker eya Kenya e Kitende mu kaweefube w’okwetegekera empaka za CAF Champions League mw’egenda okuttunkira ne Enyimba eya Nigeria nga February 12.

SOANA eragiddwa esasule Express: Akakiiko ka FUFA akakola ku nsonga z’abazannyi kalagidde Soana okusasula Express akakadde k’ensimbi kamu olw’okutwala omuzibizi waayo, Ayub Kiiza mu bukyamu.

Kiiza, yeegasse ku Soana kyokka ng’endagaano ye mu Express ebadde abulako emyezi esatu, ekyavuddeko aba Express okuddukira mu FUFA ne baloopa.

Oluvannyuma lw’okutuula ku Lwokutaano, baasazeewo, Soana eteese ne Express esasule ebbanga eryali libulayo ku ndagaano ya Kiiza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....