TOP

Liigi y'omupiira gw'abakazi ezzeemu

Added 1st February 2016

Ttiimu ya UCU ye yabadde ensaale mu kulakaabya endala bwe yakomeredde Rhines SS gye yakyazizza mu maka gaayo e Mukono ggoolo 7-0.

 Doroth Namugenyi owa Buikwe She Redstars (ku kkono) ng'alwanira omupiira ne Jackline Nassali owa She Corporates mu gumu ku mipiira liigi y'omupiira gwa bakiazi egyazannyiddwa oluvannyuma lw'okuwummulamu emyezi ebiri. Baalemaganye 0-0 ku kisaawe kya Posta e Nakawa. (STEPHEN MAYAMBA)

She Corporates 0-0 Buikwe She Red Stars

Kawempe Muslim SS 4-2 She Mak ST

UCU 7-0 Rhines SS

Gafford Ladies 1-0 Ajax Queens

Oluvanyuma lw’emyezi ebiri ng’ewumudde, liigi y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi ogw’ebigere yazzeemu era kiraabu ne zitandikira we zaakoma okubbinkana.

Ttiimu ya UCU ye yabadde ensaale mu kulakaabya endala bwe yakomeredde Rhines SS gye yakyazizza mu maka gaayo e Mukono ggoolo 7-0.

Ggoolo za UCU zaatebeddwa Bannakenya; Millicent Mwanzi (4) ne  Maureen Kinavudori (3).

E Makerere, bakyampiyoni b’omwaka oguwedde aba Kawempe Muslim SS FC baalumbye She Mak St, ttiimu y’ettendekero lya yunivasite ya Makerere ne babakubira omwabwe 4-2 ne bongera okutangaaza emikisa gy’okweddiza ekikopo kyabwe.

E Nakawa, She Corporates ne Buikwe She Redstars balinga abataayise na bateebi oluvannyuma lw’omupiira okuggwa nga buli ludda lwanjala ngalo (0-0).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...