TOP

Kawempe Muslim eraze Makerere eryanyi

Added 2nd February 2016

Kawempe Muslim eraze Makerere eryanyi

 Margaret Namakula owa Buikwe Redstars (mu maaso) ng’attunka ne Jackline Nassali owa She Corprates ku Lwomukaaga.

Margaret Namakula owa Buikwe Redstars (mu maaso) ng’attunka ne Jackline Nassali owa She Corprates ku Lwomukaaga.

She Corporates 0-0 Buikwe She Red Stars Kawempe Muslim SS 4-2 She Mak ST UCU 7-0 Rhines SS Gafford Ladies 1-0 Ajax Queens OMUTINDO gwa Buikwe She Redstars FC ne She Corporates gwamazeemu abawagizi ababadde bazisuubira okusuuza Kawempe Muslim ekikopo kya liigi y’abakazi.

Mu nsiike, ttiimu zombi mwe zaakwataganidde ku kisaawe kya Posita e Nakawa, omutindo gwagaanyi okummuka era abawagizi abamu baawuliddwa nga beesooza nga bagamba nti Kawempe yaakwefuga nnyo omupiira gw’abakazi.

Baalemaganye (0-0) kyokka nga ttiimu zombi obwedda emipiira zigikuba kibaliga. E Makerere, bannyinimu aba She Mak St baavumbeeredde mu maaso g’abawagizi baabwe, Kawempe Muslim bwe yabakubye (4-2).

Munnakenya Jacinta Mamita Khavere eyasoose okuwa banne essanyu bwe yateebye mu kitundu ekisooka kyokka ate ‘n’akiyiwa’ bwe yabakubizza peneti bbiri ezazzizza Kawempe Muslim mu muzannyo.

She Corporates 0-0 Buikwe She Red Stars Kawempe Muslim SS 4-2 She Mak ST UCU 7-0 Rhines SS Gafford Ladies 1-0 Ajax Queens OMUTINDO gwa Buikwe She Redstars FC ne She Corporates gwamazeemu abawagizi ababadde bazisuubira okusuuza Kawempe Muslim ekikopo kya liigi y’abakazi. Mu nsiike, ttiimu zombi mwe zaakwataganidde ku kisaawe kya Posita e Nakawa, omutindo gwagaanyi okummuka era abawagizi abamu baawuliddwa nga beesooza nga bagamba nti Kawempe yaakwefuga nnyo omupiira gw’abakazi. Baalemaganye (0-0) kyokka nga ttiimu zombi obwedda emipiira zigikuba kibaliga. E Makerere, bannyinimu aba She Mak St baavumbeeredde mu maaso g’abawagizi baabwe, Kawempe Muslim bwe yabakubye (4-2). Munnakenya Jacinta Mamita Khavere eyasoose okuwa banne essanyu bwe yateebye mu kitundu ekisooka kyokka ate ‘n’akiyiwa’ bwe yabakubizza peneti bbiri ezazzizza Kawempe Muslim mu muzannyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...