
Branch ng'abuusa Ddigi mu bbanga
NNANTAMEGGWA wa Afrika Ross Branch alaze Bannayuganda nti ekitiibwa kimugwanidde bw'amezze nnantameggwa wa Uganda ne East Africa Maxime, Van Pee mu mwetoloolo ebbiri mu mpaka ezaabadde e Garuga ku Ssande.
Branch eyaleeteddwa ng’omugenyi yasizza abalabi enduulu bw'ataakomye ku kumegga Maxime Van Pee wabula n'agattako n’okukola obukodyo ng’ali ku ddigi mu bbanga okulagira ddala nti tewali amusobola mu Afrika.
Mu mpaka zino Branch yategezezza nti wadde yawangudde, teyafunye kaseera kangu kubanga omuliro obwedda ogumufubuttula tegwabadde mwangu.
“Ebiseera ebimu weetaga obumanyirivu n’obugumikiriza okuwangula kubanga singa tekyabadde kyo Maxime sandimumezze ate ne Arthur naye wadde twamulese nnyo tubeera kusumagira yabaddea asobola okutufuna," Branch bwe yagambye.
Bo abavuzi Bannayuganda omwabadde Ben Nsumba, Fortune Ssentamu, Ali Omar n’abalala baamwebazizza okubayigiriza obukodyo obupya mu kubbonga ddigi.