TOP

Villa etandise okwetegekera eya Sudan mu za CAF

Added 22nd February 2016

Agambye nti anoonya 'fiitinensi' eya waggulu ddala kubanga abasambi ba El Khartoum eya Sudan tebaali bangu mu luzannya olusooka wadde nga baabawangulira omwabwe ggoolo 1-0 era nga tasobola kwesigama ku ggoolo emu yokka gye baateeba nti baawangudde.

 Abasambi ba SC Villadduyiro nga batendekebwa ku Villa Park Feb 22 2016 okwetegekra Ek Khartoum eya Suday. (ekif:Silvano Kibuuka)

Abasambi ba SC Villadduyiro nga batendekebwa ku Villa Park Feb 22 2016 okwetegekra Ek Khartoum eya Suday. (ekif:Silvano Kibuuka)

Omutendesi wa SC Villa Ibrahim Kirya abasambi abakeezezza mu misinde ku lusozi lwa Kibuli kw’abajje n’abazza ku kisaawe kya Villa Park okubawa obukodyo bw’omu kisaawe.

Agambye nti anoonya 'fiitinensi' eya waggulu ddala kubanga abasambi ba El Khartoum eya Sudan tebaali bangu mu luzannya olusooka wadde nga baabawangulira omwabwe ggoolo 1-0 era nga tasobola kwesigama ku ggoolo emu yokka gye baateeba nti baawangudde.

Abadde n’abasambi bonna okuggyako Godfrey Lwesibawa eyalwala eriiso gw’agambye nti enkya waakwegatta ku ttiimu.

Kirya agambye nti obukodyo bw’awa abasambi bwa kunoonya ggoolo ng’ayagala kuggyawo ekikwa kya ttiimu za Uganda omuli ne Cranes obutateeba.

“Tuteekeddwa okuteeba kubanga omupiira toyinza kugugoba nga toteebye ate bwe bakuteeba ng’ovuddemu. Abasambi bamanyi ekyama ekyo kubanga buli kiseera nkibajjukiza era bakimanyi,” Kirya bwe yategeezezza.

Agambye nti abasambi; Denis Kamanzi ne Yaseri Mugabi paasipoota zaabwe tezinnaba kufunibwa era aperereza abaddukanya ttiimu bazifune mangu okuggumiza ttiimu.

Akuliras ebyemirimu mu Villa , Ivan Kakembo agambye nti ttiimu egenda kuyingira enkambi ku Lwokusatu ku Entebe Road wabula nga kiteeberezebwa nti bandisalawo okugikuba e Nabinoonya.

El Khartoum esuubirwa okutuuka mu Uganda ku Lwokuna okusinziira ku Kakembo.

Okutendeka abasambi kukyagenda mu maaso ng’enkya (Tuesday) ku makya baakusamba ogw’omukwano ne ttiimu ya U-17 ennonde ate olw’eggulo bagende balabe omupiira gwa liigi wakati wa KCCA FC ne URA.

Villa ye yakiikiridde Uganda mu mpaka za CAF ezizannyibwamu kiraabu eziwangudde ekikopo ky'okusirisizaawo nga mu Uganda Villa ye yawangula empaka ezo eza Uganda Cup (Kakungulu Cup).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...