TOP

Nsimbe awera kuswaza Enyimba ey'e Nigeria adde n'obuwanguzi

Added 27th February 2016

Nsimbe yategeezezza nti Enyimba ttiimu nnungi nti naye abazannyi be balina obusobozi obubafunako akabonero akabatuusa ku luzannya oludako.

George Nsimbe omutendesi wa Vipers FC

George Nsimbe omutendesi wa Vipers FC

OMUTENDESI wa Vipers, George Nsimbe agumizza Bannayuganda naddala abawagizi ba Vipers nti tebabeeramu kutya kwonna ttiimu ye esobola okuwangula Enyimba ey’e Nigeria enkya ku Ssande.

Badding'ana nkya ku Ssande mu kisaawe kya Amiessimaka Sports Complex mu kibuga Port Harcourt ekya Nigeria mu mpaka za CAF Champions League.

Mu gwasooka e Kampala, Vipers yaguwangula ggoolo 1-0 nga kati yeetaaga kulemagana kwokka eyitewo okwesogga oluzannya oluddako.

Nsimbe yategeezezza nti Enyimba ttiimu nnungi nti naye abazannyi be balina obusobozi obubafunako akabonero akabatuusa ku luzannya oludako.

“Ekyatututte kuwangula era tulina okukituukiriza kuba obosobozi tubulina. Enyimba nagirabyeko mu kutendekebwa (nga tutuuse e Nigeria) ng’eyongeddemu abazannyi kyokka tekigenda kutulemesa kutuukiriza kyatututte kuba ttiimu yange ngitegese bulungi,” Nsimbe bwe yategeezezza Bukedde eggulo (Lwamukaaga) ku ssimu.

Wadde nga Nsimbe awera okuwandulamu Enyimba, ebyafaayo tebyeyimirira ttiimu za Uganda nga zisisinkanye eza Nigeria.

Mu 1978, Enugu Rangers yawandula KCC ku mugatte gwa ggoolo 4-1. Mu 2004, Lobi Stars yaggyamu Express ku mugatte gwa ggoolo 4-1.

Mu 1992, SC Villa bwe yalumba Shooting Stars e Nigeria ne baagiwuttulirayo 3-0. Mu 2001, Villa yakubwa Julius Berger ku mugatte gwa ggoolo 3-1.

Wabula mu 1991, Villa yakuba Iwuanyanwu ku mugatte gwa 4-3. Mu 2009, nga KCC FC eri wansi wa Nsimbe, yakubwa Bayelesa ku mugatte gwa ggoolo 5-4.

Nsimbe agambye nti agenda kukisangulawo kubanga ye mukozi wa byafaayo era ne ku mulundi guno, agenda kutuusa Vipers ku luzannya olwokubiri wadde nga gwe mulundi gwabwe ogusoose okwetaba mu mpaka zino.

Ayitawo attunka n’ayitamu ku Lioli (eya Lesotho) ne Vital’O (eya Burundi).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...