TOP

Aba mmotoka z'empaka ne ddigi entegeka y'empaka ebatabudde

Added 28th February 2016

Ku Paasika, aba ddigi bategese empaka ez'okuyindira e Busiika nga zino bagamba nti za lawundi yaakubiri ku kalenda yaabwe ate nga n'abemmotoka z'empaka ne bategeka ezaabwe nga zaakubeera Kabaale.

 Bamusaayimuto Ali Omar (22) ne Luke Phillips nga battunka. Okee mu katono

Bamusaayimuto Ali Omar (22) ne Luke Phillips nga battunka. Okee mu katono

NGA yaakamala omwezi gumu gwokka mu ntebe, pulezidenti wa FMU omuggya, Dusman Okee, atandikidde mu ntalo z'aba ddigi n'emmotoka z'empaka, emizannyo egikola ekibiina kino bwe bategeseeyo empaka ku lunaku lumu ekibadde kitatera kukolebwa.

Ku Paasika, aba ddigi bategese empaka ez'okuyindira e Busiika nga zino bagamba nti za lawundi yaakubiri ku kalenda yaabwe ate nga n'abemmotoka z'empaka ne bategeka ezaabwe nga zaakubeera Kabaale.

Kino kitakuza Okee omutwe ng'agamba nti si bwe kirina okuba wadde ng'ekibiina kyagala ensimbi.

Okee agamba nti singa baabadde baagala kuzitegeka olunaku lumu, zandiyindidde mu kifo kimu ne batazaawula.

"Ekibiina kyetaaga ensimbi kuba betwasikira baakireka n'amabanja naye okutegeka empaka omulundi ogumu mu bifo eby'enjawulo kiraga omululu gw'ensimbi ekibiina gwe kirina," Okee bwe yategeezezza.

Wabula ensonda ezimu zigamba nti aba ddigi bamaze ebbanga nga beemulugunya nti aba mmotoka z'empaka babatwalako ennaku enkulu abantu kwe bacakalira ne bafuna abawagizi bangi.

Ismail Bakunda atwala ensonga za ddigi mu FMU yategeezezza nga bo bwe baagala okuwa abawagizi abanaasigala mu Kampala essanyu kye bava bategeseeyo empaka ezaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...