TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Bannayuganda bafunye omukisa okuzannyirako mu Kisaawe kya Liverpool

Bannayuganda bafunye omukisa okuzannyirako mu Kisaawe kya Liverpool

Added 1st March 2016

Bannayuganda bafunye omukisa okuzannyirako mu Kisaawe kya Liverpool

 Muwanga sabiiti pulezidenti wa USPA ku kkono ng'akwasibwa omujoozi gwa ttiimu ya Liverpool ku ddyo Herman Kasekende akulira emirimu mu Bank ya Standard chatered.

Muwanga sabiiti pulezidenti wa USPA ku kkono ng'akwasibwa omujoozi gwa ttiimu ya Liverpool ku ddyo Herman Kasekende akulira emirimu mu Bank ya Standard chatered.

Abawagizi b’omupiira naddala aba Liverpool baakufuna omukisa okugenda mu kisaawe kya Anifield okuvuganyaamu mu mpaka ezimanyiddwa nga ‘Standard Chartered Cup 2016’ ezaakazibwako erya Road To Anifield.

Empaka zino zeetabwamu amatiimu kuva mu nsi yonna mu mawanga agalimu empeereza ya Bank eno wabula nga ku mulundi guno amawanga gonna gaweereddwa omukisa okugenda okuvuganyizaako mu kisaawe kya Anifield.

Zino za bazannyi bataano ku bataano wabula nga ku mulundi guno z'ongeddwamu ekirungo omuwanguzi mu buli ggwanga bw’anaagenda mu Liverpool.

Omwaka oguwedde waasokawo empaka za East Africa nga zaawangulwa ttiimu ya Roofings kyokka eya Posta Kenya n’ewangula oluvuganya lwa East Africa era nga ye yokka eyagenda mu Liverpool.

Empaka zino zitongozeddwa nga ttiimu 40 ze zigenda okuvuganyiza e Namboole nga May 7 okunoonya omuwanguzi ng’okwewandiisa kwa 1,500,000/=. Ttiimu za Corpotate League, ba kasitoma ne bannamawulire ze zigenda okuvuganya mu mpaka ez’abazannyi bataano ku bataano. Baakulaba n’omupiira gwa Liverpool FC ne Watford kw’olwo e Namboole

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...