TOP

MICHO ALI WAZIBU

Added 6th March 2016

MICHO ALI WAZIBU

 Micho

Micho

Mu z’Afrika nga March 26: Burkina Faso - Uganda OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic ali mu kattu, olw’omutindo gw’abazannyi kw’asibidde olukoba okusereba mu kiseera ng’alinze kwambalagana ne Burkina Faso.

Ku nkomerero y’omwezi guno, Cranes erina emipiira ebiri emikulu mu z’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo ky’Afrika gy’erina okuwangula bw’eba yaakweggyako ekikwa ky’emyaka 38 nga tezannya z’Afrika ez’akamalirizo.

Nga March 26, ekyalira Burkina Faso ate olwo wayite ennaku ssatu badding’ane e Namboole. Singa Cranes ewangula emipiira gino, ejja kuba etangaazizza emikisa egy’okuyitawo ezannye mu z’Afrika e Gabon omwaka ogujja kuba ejja kuba ewezezza obubonero 12 ng’esigazizaayo emipiira ebiri mu kibinja D mweri ne Burkina Faso, Botswana ne Comros.

Bassita ababobbya Micho omutwe kwe kuli; Geoffrey Massa, Khalid Aucho, Brian Umony, Godfrey Walusimbi, Tony Mawejje, Farouk Miya ne Ceasar Okhuti nga bano abamu ku bo balina obuvune ate abalala tebali ku ffoomu mu ttiimu gye bazannyira.

Kapiteeni wa Cranes, Massa amaze ebbanga nga tazannyira Bloemfontein Celtics (South Afrika) olw’obuvune, nga yasemba okugiteebera mu November.

Umony yamenyeka okugulu mu St. George (Ethiopia) gy’agucangira era tamanyiddwa lw’addamu kulinnya mu kisaawe sso nga Aucho amaze ebbanga nga tazannyira Gor Mahia (Kenya). Omutindo gwa Godfrey Walusimbi mu Gor Mahia teguwa maanyi kuba baakazannya emipiira etaano ne bawangulako gumu gwokka sso nga ne Miya, Cranes kw’ebadde etambulira ennaku zino akyanoonya nnamba mu ttiimu empya gye yagenzeemu eya Standard League (Belgium). Yasemba okuzannya mu mpaka za CHAN.

Kizito Luwagga agezaako, yakaazikibwa mu ttiimu empya. Micho yategeezezza nti kituufu abamu ku bazannyi be omutindo guli wansi ate abalala babadde n’obuvune nti kyokka mugumu nti omupiira we gunaatuukira nga bateredde kuba agenda kubategekerayo ogw’okwegezaamu alabe abanaasobola.

“Ebizibu bino bibaddenga bitutuukako kyokka Katonda abadde atuyamba ne tubivvuunuka,” Micho bwe yategeezezza n’asaba abazannyi be balinnyise omutindo kuba omupiira gwa Burkina Faso gwa kufa na kuwona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...