TOP

Micho atutte Cranes mu Arua

Added 12th March 2016

Micho atutte Cranes mu Arua

Micho

Micho

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic ayungudde ekibinja ky'abazannyi 23 abagenze mu mambuka ga Uganda (Arua) okuzannya ne ttiimu ya West Nile ennonderere leero ku Lwomukaaga.

Omupiira guno, Micho gw'asuubira okugesereza ttiimu ye nga tennattunka na Burkina Faso mu mpaka z'okusunsulamu abalizannya ez'Afrika omwaka ogujja.

Guno mulundi gwakutaano nga Cranes ezannya emipiira gino mu kampeyini ya FUFA gye yatuuma 'Cranes Na Mutim'a okwongera okusembereza abawagizi ttiimu y'eggwanga. Yasooka kugenda Mbarara, Soroti, Masindi ne Gulu. HUSSEIN BUKENYA atunuulidde ebirungi n'ebisoomooza ebiri mu nkola eno:

EBIMU KU BIRUNGI BYAYO Efuna abazannyi abapya Mu 2014 lwe zaatandika e Mbarara, omutendesi Micho yayita abazannyi abawereko n'abawa omukisa okulaga kye balinawo.

Omuwuwuttanyi Farouk Miya, Savio Kabugo ne Derrick Tekwo baali ku ttiimu eno nga Micho yabaggya mu kiraabu zaabwe. Bano baalaga ekitone era ne bafuna omukisa okuyingira ttiimu enkulu. Wadde nga Kabugo yafuna obuvune, ye Miya akyali ku Cranes era akola bulungi nga kati yagenda ne ku gwa pulofeesono sso nga ne Tekwo, abadde ayitibwa ku kampeyini ezizzeeko.

Ttiimu okugisembereza abawagizi: FUFA bwe yali etongoza enkola eno, yali eyagala kusembeza ttiimu y'eggwanga mu bawagizi abali ewala ne Kampala ababa tebasobola kujja Namboole nga waliyo omupiira gwa Cranes.

Ku mipiira gye baatandikirako, abawagizi bo bajja mu bungi newankubadde abamu bafuluma si bamativu nga bagamba nti abazannyi be babadde basuubira okulaba si be balaba kuba Cranes gye basinga okutwala, eba y'abazannyi ba wano nga teriimu bapulofeesoni kyokka ng'ate be bazannya emipiira egy'ekigendererwa.

EBIBI EBIRI MU KAMPYEYINI ZINO Okutaataaganya liigi Ensengeka ya liigi buli lw'efuluma, abakulira ttiimu bakola embalirira ey'okubayisa mu mipiira egyo. Baba baakazannyako mibale, ate liigi n'eyimirira kisobozese Cranes okugenda mu byalo okuzannya emipiira gy'omukwano. Abazannyi ababa batagenze basigala nga batendekebwa nga bwe babasaasaanyizaako ensimbi okutuusa Cranes lw'eneemaliriza ebyayo.

Kino kinyiga abakulira ttiimu zino olw'okuyimiriza emipiira ebbanga liigi mwe yandiggweeredde ne kibawaliriza okwongera okufulumya ssente ze bataabalirira nga liigi etandika.

Omwaka oguwedde, waaliwo obutakkaanya wakati wa Vipers ne FUFA ng'entabwe eva ku bazannyi ba Vipers butazannyira Cranes bwe yali egenda e Soroti mu mipiira gino. Okukooya abazannyi: Emipiira gino gibeerawo mu liigi wakati ate nga gya kutambula mu bitundu eby'ewala.

Emipiira gino gisanga abazannyi bakoowu olw'emipiira gya liigi kyokka ate ne bagenda mu hhendo empanvu olw'okuba bagitegekera wala. Ku Lwokubiri, baba baazannye liigi, ate ne batambula ku Lwokutaano okugenda mu kitundu gye bagenda okuzannyira ku Ssande, ng'ate ku Mmande baba balina okudda mu kiraabu zaabwe. Kino kikooya abazannyi.

Wano FUFA eterezeezeemu Balyazaamaanya abawagizi: Abawagizi b'omu byalo gye baba bagenze, bwe bawulira nti Cranes ejja kubakyalira, babalindirira n'essanyu okulaba ku basambi be bazze bawulira ku leediyo oba okulaba ku ttivvi.

Kyokka kibaggwaako okulaba abamu be batawulirangako mu mipiira gya Cranes eminene. Olw'okuba omutendesi aba ayagala okugezesa abazannyi ab'enjawulo, atera okutwala abazannyi abatamanyiddwa alabe ku kitone kyabwe.

Olwo abawagizi ababa basuubira okulaba ku bazannyi nga Geoffrey Massa, Dennis Onyango baviiramu awo kuba abo tebagenda kuzannya mipiira gino nga bakyali mu liigi gye bazannyira ogwa pulofeesono.

Kimalamu abazannyi abamu amaanyi: Buli mwaka, Micho ayita abazannyi abawerako kyokka abamu bwe bavaayo, tebaddamu kulowoozebwako. Abamu bwe bataddamu kumuyita mu kampeyini endala, kimulowoozesa nti osanga teyakola bulungi kyokka ng'ekigendererwa kya mutendesi kugezesa abazannyi abawerako.

Okufuna obuvune: Ebisaawe mwe batwala abazannyi okusambiramu, ebimu tebiba ku mutindo ng'abamu ku bo, babivaamu bafunye obuvune.

Kyokka okufuna obuvune tekuli ku bisaawe byokka, wabula nga bwe guba mupiira, era abamu baguvaamu bafunye obuvune olwo kiraabu zaabwe ne zibasubwa okubasambira emipiira egiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...