TOP

Atanus Mugerwa akubidde Omumisiri e Cameroon

Added 15th March 2016

Atanus Mugerwa akubidde Omumisiri e Cameroon

 Atanus Mugerwa ng’awummuddemu oluvannyuma lw’okutendekebwa.

Atanus Mugerwa ng’awummuddemu oluvannyuma lw’okutendekebwa.

WADDE nga ttiimu ya Uganda eya Bombers byasoose butagitambulira bulungi (abasatu ku bakubi b’ebikonde bwe baawanduse mu kusunsula abagenda mu Olympics), efunye ku kaseko olwa Atanus Mugerwa okuwangula n’atangaaza emikisa gye egy’okuyitamu.

Kapiteeni wa Bombers, Mike Ssekabembe ssaako Willy Kyakonye ne Sula Segawa baawanduse mu mpaka z’okusunsula ezibumbujjira e Yaounde mu Cameroon sso nga Muzamir Kakande yawanduddwaamu olw’okutuuka ekikeerezi n’atapimwa.

Wabula Atanus Mugerwa (Bantam) yasobodde okukuba Hesham Mahmoud enzaalwa ya Misiri (ku bugoba) ne yeegatta ku Kennedy Katende (Light Heavy) ne Ronald Serugo (Fly) abaawangudde ennwaana zaabwe ezaasoose wiiki ewedde.

Mugerwa ne Katende baatuuse ku luzannya lwa ‘quarter’ nga kati basabirira kutuuka ku semi okufuna omukisa ogugenda mu Olympics anaayinda wakati wa August 5 ne 21 omwaka guno e Rio De Janeiro, Brazil.

Okusunsulamu kuggwa nga March 20 omwaka guno. Uganda kati essuubi ligiri mu bakubi bano abasatu bokka abakyayiseemu ku bakubi omusanvu abaagenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...