TOP

Micho ayise abazannyi 30 okwetegekera Burkina Faso

Added 16th March 2016

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevich ayise ttiimu y’abazannyi 30 okutandika okwetegekera emipiira ebiri egy'akaasammeeme ne Burkina Faso mu z’okusunsulamu eza AFCON 2017 e Gabon.

 Omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich ng'ali mu birowoozo oluvannyuma lw'okusoma amannya g'abazannyi be yayise okutandika okwetegekera emipiira ebiri egya Burkina Faso nga March 26 ne 29. (STEPHEN MAYAMBA)

Omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich ng'ali mu birowoozo oluvannyuma lw'okusoma amannya g'abazannyi be yayise okutandika okwetegekera emipiira ebiri egya Burkina Faso nga March 26 ne 29. (STEPHEN MAYAMBA)

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevich ayise ttiimu y’abazannyi 30 okutandika okwetegekera emipiira ebiri egy'akaasammeeme ne Burkina Faso mu z’okusunsulamu eza AFCON 2017 e Gabon.

Uganda y'egenda okusooka okukyalira Burkina Faso ku Lwomukaaga nga March 26 mu kibuga Oagadougou ate badding'ane oluvannyuma lw’ennaku ssatu zokka (ku Lwokubiri nga March 29), mu kisaawe e Namboole emipiira Cranes gye yeetaaga okuwangula okweggyako ekikwa ky’obutazannya mu mpaka za Afrika ez’akamalirizo.

Ng’afulumya amannya g’abazannyi bano mu lukung'aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya FUFA e Mengo, Micho ategeezezza nti yadde FUFA yali esabye Gavumenti okugikwasizaako ng’epangisiriza ttiimu ennyonyi ekitannabwa kukasibwa, ye agenda kukola omulimu gwe ogw’okuteekateeka abazannyi mu mbeera yonna okulaba nga bawa Bannayuganda essanyu lye babadde bayayaanira okumala emyaka egisoba mu 30.

Ttiimu etandika ku Lwakutaano okutendekebwa e Namboole mu kisaawe ky’ebweru sso nga bapulofesono bonna basuubirwa okuggwayo obutasukka ku Mmande.

Uganda ekulembedde ekibinja D n’obubonero mukaaga (6) mu mipiira ebiri. Okusinziira ku Micho, twetaaga obubonero musanvu mu mipiira ena egisigaddeyo nga mukaaga. Burkina Faso ne Botswana balina busatu buli omu ate Comoros terinaayo.

Abakwasi ba ggoolo:

Dennis Onyango (Mamelodi Sundowns, South Africa), Robert Odongkara (St George, Ethiopia), James Alitho (Vipers, Uganda), Salim Jamal (El Merriekh, Sudan)

Abazibizi:

Denis Iguma (Al Itihad, Lebanon), Isaac Isinde (St George, Ethiopia), Joseph Nsubuga (Bright Stars, Uganda), Joseph Ochaya (KCCA, Uganda), Denis Okot Oola (KCCA, Uganda), Isaac Muleme (SC Villa, Uganda), Murushid Jjuuko (Simba, Tanzania), Hassan Wasswa Mawanda (Al Shorta, Iraq), Timothy Awanyi (KCCA, Uganda), Bernard Muwanga (Bright Stars, Uganda)

Abawuwutannyi:

Mike Azira (Colorado Rapids, America), Aucho Khalid (Gor Mahia, Kenya), Moses Oloya (Becamex Binh Duong, Vietnam), Yassar Mugerwa (Orlando Pirates, South Africa), Tonny Mawejje (Knattspyrnufélagið Þróttur, Iceland), Ivan Ntege (KCCA, Uganda), William Luwagga Kizito (Feirense, Portugal), Mike Sserumaga (SC Villa, Uganda), Godfrey Walusimbi (Gor Mahia, Kenya), Farouk Miya (Standard Liege, Bubirigi, Belgium)

Abateebi:

Geofrey Massa (Bloemfontein Celtics, South Africa), Emmanuel Okwi (Sonderjsyke, Denmark), Erisa Ssekisambu (Vipers, Uganda), Hamis ‘Diego’ Kiiza (Simba, Tanzania), Ceasar Okhuti (KCCA, Uganda), Edrisa Lubega (Proline, Uganda)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.

Minisita atongozza olukiiko...

Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abayiiya...

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Museveni alaze by'agenda ok...

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale...

Akabonero ka manvuuli aka NUP akagenda okukozesebwa aba NUP mu kulonda..jpg

Aba NUP beemulugunya olwa b...

AB'EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) balaze obwennyamivu olw'obutali bwenkanya obugenda mu maaso n'okubakolebwako...

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...