TOP

'Mbabazi teyabbibwa, talina bawagizi'

Added 18th March 2016

‘Mbabazi teyabbibwa, talina bawagizi’

 Abalamuzi Stella Alach Amako, Jotham Tumwesigye, Ssaabalamuzi Bart Katureebe, Lydia Mugambe ne Nshimye mu kkooti ku Lwokuna nga bawuliriza looya Masiko, awolereza Pulezidenti Museveni.

Abalamuzi Stella Alach Amako, Jotham Tumwesigye, Ssaabalamuzi Bart Katureebe, Lydia Mugambe ne Nshimye mu kkooti ku Lwokuna nga bawuliriza looya Masiko, awolereza Pulezidenti Museveni.

AKAKIIKO k’Ebyokulonda kakudaalidde Amama Mbabazi nti Kampala ne Wakiso gye yeekwasa nti ebikozesebwa mu kulonda byatuuka kikeerezi abalonzi obukadde bubiri ne bataataaganyizibwa, talinaayo buwagizi wadde.

Bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda; Enos Tumusiime, MacDusman Kabega, Alfred Okello Oryem ne Erison Karuhanga kino baakituuseeko bwe baabadde beewozaako ku bujulizi Mbabazi bwe yatutte mu kkooti ey’oku ntikko ng’abalanga okuvuluga okulonda n’okulemwa okugoberera amateeka g’ebyokulonda mu kutegeka akalulu aka nga February 18, 2016.

Tumusime: Mu bujulizi bwe, Mbabazi agamba nti waaliwo okukeereya okutuusa ebikozesebwa mu kulonda mu Kampala ne Wakiso kw’agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kaakukola mu bugenderevu kubanga Museveni teyalina buwagizi mu Kampala ne Wakiso. Kituufu waaliwo okukeerewa okutonotono kubanga ku disitulikiti zonna 112, okukeerewa kwali mu disitulikiti bbiri zokka.

Abantu nga tebannatandika kumala ganenya akakiiko ak’Ebyokulonda, balina okutegeera eddimu eddene akakiiko lye kaalina okuteekateeka okulonda okw’eggwanga lyonna eririna ebifo ebironderwamu 28,010.

Mu Wakiso ne Kampala kituufu ebikozesebwa byatuukamu kikeerezi era kino Dr. Kiggundu yakyetondera era n’akola enteekateeka ez’okulaba nti abalonzi bonna mu Kampala ne Wakiso bakuba akalulu.

Mbabazi talina bujulizi bwonna bwe yaleese okulaga kkooti nti waliwo omulonzi mu Kampala oba Wakiso ataalonda olw’okukeerewa okwo. Mbabazi era talina bujulizi bwe yaleese okulaga nti okukeerewa kw’ebikozesebwa mu Wakiso ne Kampala, akakiiko kaakikola mu bugenderevu okuyamba Museveni.

Mbabazi agamba nti Museveni talina buwagizi mu Kampala ne Wakiso kyokka naye talinaayo buwagizi mu Wakiso ne Kampala era talina bujulizi bwe yaleese kulaga nti okukeerewa kw’okulonda mu Wakiso ne Kampala kwamukosa.

ABALONZI BA KAMPALA NE WAKISO BAJJUMBIDDE OKULONDA OKUSINGA

MU 2011 Wadde waabaddewo okukeerewa mu Kampala ne Wakiso, ebyavudde mu kulonda kwa February 18, biraga nti abalonzi b’omu Wakiso ne Kampala bajjumbidde okusinga bwe gwali mu 2011.

Abalonzi ebitundu 51.48 ku 100 mu Kampala be beetabye mu kulonda kwa 2016 so nga mu 2011, abalonzi ebitundu 42.5 ku 100 be baalonda mu Kampala. Mu Wakiso, abalonzi ebitundu 53.84 ku 100 be beetabye mu kulonda kwa 2016 so nga mu 2011 abalonzi abaakuba akalulu baali ebitundu 47.53 ku 100.

Nsaba kkooti ekitegeere nti Kampala ne Wakiso abalonzi bangi, noolwekyo ekya layini empanvu kyalina okubaawo ebikozesebwa ne bwe byandituusiddwa mu budde. LIJESITA

EYAKOZESEBWA MU KULONDA YALI MU MATEEKA

Kyewuunyisa Mbabazi okugamba nti lijesita y’abalonzi eyakozeseddwa mu kulonda kuno teri mu mateeka kubanga abantu mu kwewandiisa baali bagenderera kufuna densite y’eggwanga.

Mbabazi yennyini bwe yali yeewandiisa okwesimbawo, ebimu ku biwandiiko bye yaleeta mu kakiiko kwaliko densite y’eggwanga ate n’ekirala yamala ebbanga mu gavumenti, talina lwe yavaayo kuwakanya nteekateeka ey’okweyambisa densite y’eggwanga mu byokulonda. Ebyo nga bizze ku bbali, Mbabazi talina bujulizi bwe yaleese mu kkooti okulaga nti waliwo omuntu yenna atuusizza emyaka egy’okulonda eyalemesebwa okulonda olw’erinnya lye okubula mu lijesita.Kkooti tugisaba egobe omusango gwa Amama Mbabazi kubanga tegulina bujulizi.

Looya Muhammad Mbabazi ng’atambula okudda mu kifo kye.

 

MUSEVENI YAWANDIISIBWA MU MATEEKA

Obutundu 8,9,10 ne 11 obw’etteeka ly’okulonda Pulezidenti buluhhamya akakiiko k’Ebyokulonda ku birina okugobererwa mu kuwandiisa bakandideeti okuvuganya ku bwapulezidenti era obutundu obwo bwe bwagobereddwa mu kuwandiisa bakandideeti okuli Mbabazi, Museveni n’abalala November 3 ne 4, 2016.

Mbabazi yalemeddwa okuleeta obujulizi obulala nti akakiiko kaayongezaayo okuwandiisa bakandideeti okuwa Museveni enkizo noolwekyo tusaba kkooti guno omusango gugobwe.

Obuuma bwe bwavaako twakozesa lijesitaObuuma bwa tekinologiya obwa BVVK si bwe bwakola nga lijesita y’abalonzi wabula lwayamba ku kulwanyisa omuze ogw’okulonda emirundi emingi n’okuggya abalonzi ab’empewo mu lijesita. Ebyogerebwa Mbabazi nti buli muntu akuuma kaali kamukolerako eddakiika 2 si bituufu.

Singa buli muntu akuuma kaali kamukolerako eddakiika 2 kitegeeza nti abalozi 270 be bandibadde bakolebwako mu buli kifo ekironderwamu n’omugatte gwa bantu 5,700,000 mu ggwanga ekitasoboka.

Akuuma kaateekebwamu kaadi bbiri okusobola okusika netiwaaka wabula tekaasobola kukola mu buli kitundu mu ggwanga. Mu bitundu ebimu kaalemererwa okusoma ekinkumu ky’abalonzi ate mu birala ne kagaanira ddala era nga mu mbeera bw’eti akulira ebyokulonda yali yeeyambisa lijesita.

TEWALI YAGAANIBWA KULONDA

Akawaayiro 15 ak’etteeka lya Electoral Commission Act, kawa ebbeetu omuntu yenna okwemulugunya ku nsonga ezikwatagana ku kulonda nga tekunnabaawo ne bwe kuba kuwedde.

Akakiiko k’ebyokulonda kaatondawo akakiiko akawuliriza okwemulugunya era bw’oba tomatidde n’ogenda mu kkooti naye kino Mbabazi teyakikola. OKUGGYAKO EMIKUTU GYA

FACEBOOK NE TWITTER

Kino tekyakolebwa na kigendererwa kya kunafuya Mbabazi kubanga ne bakandideti abalala kyabakosa. Tewali bujulizi bulaga nti okuggyako emikutu gino kyakosa ebyokulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...