TOP

KCCA FC esiitaanye okuwangula Hippos mu gw'okwegezaamu

Added 24th March 2016

BAMUSAAYIMUTO aba ‘Hippos’ - ttiimu y’eggwanga eyabali wansi w’emyaka 20 bakamudde KCCA FC akatuuyo mu gw’okwegezaamu n'esitaana okubaggyako obuwanguzi.

 Sulaiman Akinyemi owa KCCA FC (wakati) ng'attunka ne Sophas Kaweke (ku kkono) ne Emmanuel Olinga aba ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20 egenda okuzannnya Rwanda wiikendi ejja mu z'okusunsulamu za Africa. (STEPHEN MAYAMBA)

Mike Mutebi atendeka KCCA FC katono ebikya bimwereege ng’afalaasira abazannyi be okuokumya okuzannyisa ekyejo ng’alaba ttiimu ye eyolekedde okuswazibwa abalenzi ba Hippos abeetegekera ogw’okusunsulamu mu za Africa ne Rwanda wiikendi ejja.

Hippos y'esooka okukyala. Yafesi Mubiru ne Joseph Ssemujju be batebeedde Hippos ggoolo zaayo mu kitundu ekisooka ng’omupiira gwakatandika olwo KCCA FC ne yeerwanako okunoonya ggoolo ebbiri okuyunga n’oluvannyuma ebbiri ezawangudde omuzaanyo.  

Muzamiru Mutyaba, Jackson Nunda, Sulaiman Akinyemi ne Geofrey Ssempa  be baateebedde KCCA FC wabula Mutebi n'asigala nga ssi mumativu n’abazannyi be bwe yategeezezza oluvannyuma lw’omupiira nti bagira beeyibala ajja kubasalako bategeera nti ye takolagana na bazannyi ba ssemugayaavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.