TOP

Ttiimu ya Hipos etuuse bulungi e Rwanda

Added 1st April 2016

Ttiimu ya Hipos etuuse bulungi e Rwanda

 Ttiimu ya Hipos ng'ali mu kutendekebw

Ttiimu ya Hipos ng'ali mu kutendekebw

Enkya ku lwomukaaga

Mu za CAF ez’abali wansi w’emyaka 20

Rwanda U20 – Uganda Hippos , E  Kigali mu  Regional Stadium, Nyamirambo

TTIIMU y’eggwanga ey’abatassusa myaka 20 ‘The Hippos’ enkya ya leero
etuuse bulungi mu kibuga Kigali ekya Rwanda okwetegekera ensitaaano
yaabwe ne bannyinimu enkya mu gw’oluzannya olusooka mu za Africa
eza batasukka myaka 20.

Akawungeezi ka jjo ekibinja ky’abantu 26 nga kikulembeddwa Agnes Mugena omukiise ku lukkiko lwa FUFA olw’okuntikko era atwala omupiira gw’abakyala kyasimbudde mu bbaasi okwolekera Rwanda era okusinziira ku Joseph Mutaka owamawulire wa ttiimu eno batuuse bulungi e Kigali.

Akawungeezi ka leero ttiimu yakutendekebwa mu kisaawe kya Kigali
Regional Stadium omupiira mwe gugenda okuzannyirwa enkya okugezaako
okukimanyira.

Ye Kefa Kisala omutendesi wa ttiimu eno yategeezezza nga tebanasimbula nti okusinziira ku mutindo abazannyi gwe booleseza mu wiiki ebbiri z’abadde nabo talina kubusabuusa kwonna nti ttiimu ye kufuna obuwanguzi ku bannyinimu okusobola okwegyako puleesa mu gw’okuddingana e Kampala mu bbanga lya wiiki satu.

Abazannyi 18 abaatwaliddwa mu ttiimu; Abakwasi ba ggoolo Keni Saidi ne James Ahebwa.
Abalala kuliko; Umaru Mukobe, Hassan Musana, Lwaliwa Halidi, Geofrey
Wasswa, Emmanuel Olinga, Julius Poloto, Shafiq Kagimu, Mustapha Mujuzi, Nicholas Kagaba, Yasin Mugume, Martin Kizza, Alfred Lekku, Edrisa Lubega, Zake Luboyera, Joseph Ssemujju, Daniel Shabena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...