TOP

Bukedde bagikubye n'esubwa ennyonyi

Added 5th April 2016

Bukedde bagikubye n'esubwa ennyonyi

 Omubaka wa Bungereza mu Uganda, Alison Blackburn (omuzungu), Herman Kasekende akulira Standard Chartered mu Uganda (amuddiridde), Edgar Watson (owa FUFA), n'abazannyi ba ttiimu ezatuse ku fayinolo

Omubaka wa Bungereza mu Uganda, Alison Blackburn (omuzungu), Herman Kasekende akulira Standard Chartered mu Uganda (amuddiridde), Edgar Watson (owa FUFA), n'abazannyi ba ttiimu ezatuse ku fayinolo

Fayinolo za Road to Anfield: Bukedde 0-1 Cipla Semi za Road to Anfield: Bukedde 1(2)-1(0) Roofings Cipla 3-0 Airtel TTIIMU ya Bukedde, yakomye ku munaabo bwe yakubiddwa ku fayinolo mu mpaka z'amakampuni eza Standard Chartered Road to Anfield abawanguzi mwe bagenda okukyala mu Bungereza balabe omupiira mu kisaawe kya Liverpool ekya Anfield.

Empaka ezaabadde mu kisaawe e Namboole, zeetabiddwamu ttiimu 40 okuva mu makampuni ag'enjawulo.

Bukedde yakubiddwa Cipla ggoolo (1-0). Wabula wadde ng'olugendo lw'omu Anfield lwabasubye, aba Bukedde baavuddeyo basanyufu oluvannyuma lwa ttiimu okukomawo n'emidaali n'okuleeta omukwasi wa ggoolo (Vally Mugwanya) eyasinze mu bonna.

Cipla (eyawangude empaka), yaweereddwa ekikopo era yeetegekera lugendo lw'e Bungereza. Akakiiko akategesi kasiimye kkampuni zonna ezeetabye mu mpaka z'omulundi guno era ne kasuubiza okwongera okulinnyisa omutindo omulundi oguddako.

"Tusanyuka buli ttiimu lwe zeetaba mu mpaka zino era nga kitulaga nti ekigendererwa ekyokuyiggira Liverpool abawagizi kibeera kituukirira, naddala mu Afrika n'amawanga amalala." Alison Blackburne omubaka wa Bungereza mu Uganda bwe yategeezezza. Aba Cipla bagenda kulaba omupiira gwa Liverpool ne Watforf nag Nay 7

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu