TOP

Ssenga' wa KCCA yeebazizza FUFA

Added 10th April 2016

Ssenga' wa KCCA yeebazizza FUFA

 Nakyejwe

Nakyejwe

NNAMWANDU wa Ibrahim Kirunda, eyali omusawo wa Police FC, yeebazizza abaamudduukirira nga bba afudde wiiki bbiri emabega.

Fatuma Nakyejwe, amanyiddwa nga Ssenga wa KCCA, agamba nti omugenzi bba Kirunda, yamusigala ku mwoyo wabula n'asiima abaamuwerekerako mu kuziika e Walanga okumpi n'oluguudo oludda ku Ssaza e Iganga. Kirunda, yali musawo w'abazannyi ba Police FC okumala ebbanga kyokka era yaliko omusambi w'omupiira nga yakacangirako mu Nile FC. "Nneebaza abakungu ba Police FC wamu ne FUFA, abannyamba nga baze afudde.

Nnina essuubi nti nja kuba nabo mu kumaliriza dduwa y'omugenzi nga May 8," Nakyejwe bwe yategeezezza. Omugenzi Kirunda, yafa oluvannyuma lw'okufuna akabenje n'akosebwa mu kugulu n'atwalibwa mu ddwaaliro gye yafiira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...