TOP

Ebya George Nsimbe bibi

Added 12th April 2016

Ebya George Nsimbe bibi

 George Nsimbe omutendesi wa Vipers

George Nsimbe omutendesi wa Vipers

Leero mu liigi ya Azam:

BIDCO - Simba e Kakindu,10:30

URA - JMC e Lugazi, 10:30

Lweza - KCCA e Wankulukuku, 10:30

Maroons - Police e Luzira, 10:30

Victoria Univ - Saints e Namboole, 10:30

Bright Stars - Vipers e Matugga, 10:30

Soana - Express e Kavumba, 10:30

LIIGI y’eggwanga eya Azam Uganda Premier League eddamu leero n’emipiira musanvu. Emipiira egisinga okubaako embiranye gwe gwa Lweza ng’ekyazizza KCCA FC e Wankulukuku ssaako Bright Stars nayo gw’ekyalizzaamu Vipers e Matugga.

KCCA yaakawangula emipiira ena egy’omuddirig’anwa kyokka Lweza gy’ekyalidde tegiwangulangako bukyanga (Lweza) ejja mu liigi.

Kino omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi ky’alina okusalira amagezi mu kaseera nga yeetaaga okuwangula emipiira mukaaga ku munaana gy’asigazizza atwale ekikopo kye ekisoose mu byafaayo bye ng’omutendesi.

Muzamir Mutyaba, Ceaser Okhuti, Hassan Wasswa ‘Dazo’, Lawrence Kasadha, Ivan Ntege tebagenda kuzannya mupiira guno olw’obuvune era omumyuka wa Mutebi, Badru Kaddu agamba nti kyandibakosa kyokka bajja kusigala ku mulamwa gw’okufuna obuwanguzi basigale ku ntikko. E Matugga, mu byafaayo Vipers tewangulirangayo Bright Stars kyokka omutendesi wa Vipers, George Nsimbe alina okuvaayo n’obuwanguzi ttiimu ye bw’eba yaakusigala ng’evuganya ku kikopo.

Ensonda mu Vipers zaategeezezza nti Nsimbe baamukunyizza nga bamubuuza lwaki ttiimu eyawangula ekikopo sizoni ewedde, eremeddwa okukola obulungi sizoni eno!

Omu ku bakungu ba Vipers ataayagadde kwatuukiriza mannya, yagambye nti, “Twaleeta Nsimbe nga twagala atugatteko tuwangule ebikopo ebiwera kyokka bukya atwegattako ttiimu eyongera kuddirira.

” Yagasseeko nti, “Nsimbe alina okulaga ekyamuleeta mu ttiimu agigatteko.” Guno gugenda kuba mulundi gwakusatu ng’omutendesi wa Bright Stars, Fred Kajoba tali ku katebe ka ttiimu ye olw’okulwalira ku Cranes bwe yali eva e Burkina Faso mu z’okusunsulamu abalizannya empaka za Afrika.

Bukya Nsimbe yeegatta ku Vipers, omutindo gwayo gugaanyi okummuka nga mu mipiira mukaaga gy’abadde mu mitambo gya ttiimu, awanguddeko esatu (Sadolin 2-0), (Maroons 1-0) ne (Soana 2-0) n’akubwa gumu (Lweza 2-1) n’okulemagana (Villa 2-2) ne (Police 0-0).

Nsimbe yategeezezza nti abazannyi be Kizito Keziron, Shafik Bakaki, William Wadri, John Ssemazzi, Brian Nkuubi ababadde abalwadde leero weebali era asuubizza nti bagenda kuva e Matugga n’obuwanguzi omulundi ogusoose mu byafaayo.

 EXPRESS ekyalinze kira giro: Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, ssentebe wa Exprees, Francis Ntalazi yategeezezza nga bwe bagenda okuzira emipiira gya liigi oluvannyuma lwa FUFA okubakakka okuddamu omupiira ne Airtel Kitara ogwayiika mu Uganda Cup.

Eggulo Wasswa Bbosa yategeezezza nti singa mukama we amulagira okutwala ttiimu e Kavumba agenda kugitwala era alinze kiragiro.

Bbosa talina kutuula ku katebe ka Express oluvannyuma lwa FUFA okumukaliga emipiira ebiri. SC Villa ekomyewo: SC Villa ekomyewo mu ggwanga okuva e Morocco ttiimu yaayo FUS Rabat gye yabawuttudde ggoolo 7-0 mu za CAF Confederations Cup ku Lwokutaano.

Omutendesi wa Villa, Ibrahim Kirya okukubwa olukunkumuli lwa ggoolo akitadde ku ddiifiri Mohamed Marouf okuva e Misiri gw’alumiriza okubasaliriza ekisusse.

Kirya yategeezezza nti abazannyi be baagezzaako kyokka baabadde bakooye nnyo olw’olugendo oluwanvu lwe baatambula mu bbaasi okuva e Casablanca ekibuga ekikulu ekya Morocco ennyonyi gye yabasuula okutuuka e Rabat gye baazannyira omupiira.

Kirya agamba nti ne bwe baayingidde ekisaawe ddiifiri yabalamudde ng’ali ku biragiro nti Villa terina kulumba Rabat. “Okukubwa sandikigaanyi kyokka ddiifiri Omuwarabu yabadde n’ekkobaane okutulemesa.

Baasoose kututambuzza lugenda luwanvu mu bbaasi ne tutuuka nga tukooye ate ne mu kisaawe ne batunyaga. Bandituwangudde kyokka ebintu bye baatukoze byasusse,” Kirya bwe yategeezezza. Ng’ekitundu ekyokubiri kizzeemu, ekisaawe twasanze bakitobezza nga bamaze okukizuula nti engatto z’abazannyi bange ziseerera.

Pulezidenti wa ttiimu eno Ying. Ben Misagga yategeezezza nti tebagenda kuggwaamu maanyi kuba bakyalina ogw’okudding’ana. Baakudding’ana nga April 19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...