TOP

Ssimbwa agobeddwa n'alekera aba KCCA FC obubaka

Added 21st April 2016

ABADDE omumyuka w’omutendesi wa KCCA FC, Sam Ssimbwa olwamufuumudde ku mulimu n’agenda mu maka ga ttiimu eno e Lugogo n’asiibula abazannyi n’abatendesi n’abasibirira entanda y’okukola ennyo bawangule liigi sizoni eno.

 Abadde omutendesi wa KCCA eyafuumuddwa, Sam Ssimbwa

Abadde omutendesi wa KCCA eyafuumuddwa, Sam Ssimbwa

ABADDE omumyuka w’omutendesi wa KCCA FC, Sam Ssimbwa olwamufuumudde ku mulimu n’agenda mu maka ga ttiimu eno e Lugogo n’asiibula abazannyi n’abatendesi n’abasibirira entanda y’okukola ennyo bawangule liigi sizoni eno.

Eggulo, abakungu ba KCCA baayise Ssimbwa ne bamuwa ebbaluwa eyamugobye ku mulimu nga waakayita ennaku mukaaaga nga FUFA emukalize emyezi munaana nga teyeetaba mu nsonga za mupiira zonna olw’akatambi akaafuluma mu December ng’agamba nti asobola okugulirira baddiifiri okuyamba ttiimu ye okufuna obuwanguzi.

“Oluvannyuma lwa FUFA okukukaliga emyezi munaana nga teweetaba mu mupiira, kituzibuwalidde okugenda mu maaso n’okukolagana naawe era kwe kusalawo okusazaamu endagaano yo,” By’ebimu ku bigambo ebyabadde mu bbaluwa bannamateeka ba KCCA gye baawadde Ssimbwa eyamugobye.

Ssimbwa yeegatta ku KCCA ng’ava mu SC Villa ku ntandikwa ya sizoni. Yakola endagaano ya myaka esatu ng’abadde yaakatambuzaako emyezi mwenda.

Kigambibwa nti endagaano Ssimbwa gye yakola ne KCCA FC abadde afuna 4,000,000/- buli mwezi ng’erimu n’akawaayiro akagamba nti singa agobwa, waakuliyirirwa ebitundu 50 ku 100 ku ndagaano ebeera esigaddeyo.

Kyokka ku mulundi guno talina nnusu yonna gy’agenda kufuna kuba aba KCCA bagamba nti ye yamenye endagaano. Guno mulundi gwakubiri mu myaka ebiri nga Ssimbwa agobwa ku mulimu, nga Villa yamugoba mu makkati ga sizoni ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...