
Abazannyi ba Villa ne FUS Rabat ngabali mu nsiike e Namboole
Mu CAF Confedereations Cup: SC Villa 1-0 FUS Rabat WADDE omutendesi wa SC Villa, Ibrahim Kiry yakoze mu nkyukakyuka ya ttiimu ye eyawuttulwa FUS Rabat eya Morocco ggoolo 7-0 mu gwasooka, ggoolo 8-0 ze yabadde yeetaaga mu gw’okudding’ana zaamulemye okuweza okuyisaawo ttiimu okugenda ku luzannya oluddako mu mpaka za CAF Confederations Cup.
Mu bazannyi 11 abaatandika omupiira ogwasooka, Kirya yaggyeemu Mike Sserumaga, Tadeo Lwanga, Henry Katongole ne Ambrose Kirya ebifo byabwe n’abisoosaamu Martin Kiiza, Abel Eturude, Patrick Mbowa ne Dennis Kamanzi nga bano be yagasse ku Nicholas Ssebwato, Miisi Katende, Jonathan Mugabi, Isaac Muleme, Godfrey Lwesibawa, Robert Achema ne Umar Kasumba.
Nga bwe kyabadde ekigendererwa kya Kirya okuva e Namboole n’obuwanguzi, yakituukirizza naye nga ttiimu ye ewanduse.
“Wadde tuwanduse naye naffe obuwanguzi bw’awaka tubufunye,” Kirya bwe yategeezezza oluvannyuma lw’omupiira okuggwa, nga bawangudde ne ggoolo 1-0 kyokka nga FUS Rabat, yabawuttula 7-0 ewaayo.
Villa yanyigirizza okuva mu kitundu ekyasoose kyokka teyafunyeemu wadde ggoolo okutuusa mu kitundu ekyokubiri, bwe yafunye peneti eyateebeddwa Umar Kasumba.