TOP

okugitaasaVilla ezze kweyozaako nnaku mu Uganda Cup

Added 24th April 2016

okugitaasaVilla ezze kweyozaako nnaku mu Uganda Cup

 Kirya

Kirya

Ku ‘quarter’ ya Uganda Cup:

Bright Stars - KCCA, Matugga 10:00

Lweza - Entebe, Wankulukuku 10:00

Vipers - Hope Doves, Buikwe 10:00

Villa - Onduparaka, Namboole 10:00

Egyazannyiddwa mu liigi

Maroons 1-2 Express

Victoria Univ 0-3 Bright Stars

Police 1-0 Simba

ENSIITAANO y’okuyingira semi ya Uganda Cup etandika leero (Ssande), nga ttiimu ssatu zikirimaanyi okuli; Villa, KCCA FC ne Vipers ziri mu nsiike ku bisaawe eby’enjawulo . KCCA ekyalidde Bright Stars e Matugga ate Vipers erinze Hope Doves e Buikwe sso nga SC Villa ettunka ne Onduparaka (ekulembedde ekibinja kya Big League) e Namboole.

Omupiira gwa Bright Stars ne KCCA gusuubirwamu ebbugumu kuba ogwa liigi gwalimu akavuyo, abawagizi ba Bright Stars bwe baayingira ekisaawe nga bawakanya ennamula ya ddiifiri. KCCA yaguwangula (2-1) wabula akakiiko ka liigi ne kakaliga omukwasi wa ggoolo ya Bright Stars, Mathias Kigonya nti ye yavaako effujjo.

Mu ngeri y’emu, omutendesi wa SC Villa, Ibrahim Kirya atidde okuwangulwa Onduparaka ezannyira mu Big League ng’agamba nti ttiimu eziva mu byalo tezeetaaga kugaya.

Ku Lwokusatu, Villa yawangudde FUS Rabat eya Morocco (1-0) mu CAF Confederations Cup nga Uganda Cup gye yawangula omwaka oguwedde, ye yagituusa okuzannya empaka zino. “Okuddamu okukiika tulina kuwangula kikopo ekitegeeza nti leero tuzze okubaga ku lugendo olunaatuzzaayo mu mpaka za CAF,” Kirya bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.