TOP

Micho amatidde enzannya ya Lorenzen

Added 26th May 2016

Micho amatidde enzannya ya Lorenzen

 Lorenzen ng'ali mu kutendekebwa

Lorenzen ng'ali mu kutendekebwa

June 4 mu z’Afrika: Botswana - Uganda Lwakubiri mu gw’omukwano: Zimbabwe - Uganda OMUZANNYI w’e Girimaani, Melvyn Lorenzen yatendekeddwa ne Cranes eggulo omulundi gwe ogusoose kyokka omutindo gw’ekisaawe ky’e Namboole omubi ne gumutiisa.

Enkuba ebadde efudemba ennaku zino yayonoonye Namboole, Lorenzen ky’agamba nti kyamukaluubiridde okuzannyiramu okusinziira ku bisaawe bulijjo by’azannyiramu e Girimaani gy’azannyira mu Werder Bremen.

Omuzannyi ono, e Namboole yabaddeyo n’omutendesi we Hankus Rainer gwe yazze naye era bakira awandiika buli muzannyi we ky’akola ku kisaawe. Mu ddakiika ey’e 15, Lorenzen yateebye ggoolo eyabadde amakula wadde nga Cranes yakubiddwa Saints ggoolo 4-3 mu gwabadde ogw’okwegezaamu.

Nga tannateeba, omutendesi we yeegeyezzaamu n’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic ng’amuwabula ku ngeri gy’alina okuzannyamu ekyaviiriddeko Micho okumukyusa n’amuzza ku ludda lwa kkono ekyalinnyisizza omutindo gwe. Micho ky’agamba:

Micho yategeezezza nti Lorenzen muzannyi mulungi nti kyokka okumanyiira omupiira gwa Uganda n’abazannyi b’asanzeewo tekigenda kumwanguyira kuba aludde ng’azannyira mu Bazungu ate omupiira gwa Afrika gwa njawulo.“Melvyn alina ekitone naye olw’okuba Cranes abazannyi abaliwo bagiruddemu kimwetaagisa okubamanyiira n’okukwatagana obulungi kimusobozese okuzannya nga yeetaaya,” Micho bwe yategeezezza.

EMPAPULA ZE ZIKOLWAKO:

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein eggulo yategeezezza nti Lorenzen baamukeezezza ku ofiisi za poliisi y’ensi yonna e Nakasero ne ku ofiisi evunaanyizibwa okugaba paasipooti nga baagala afune ebbaluwa ezimulaga nga bw’ali Munnayuganda era akkirizibwe okugizannyira. Hussein yayongeddeko nti baawandiikidde ne CAF nga bagitegeeza ku ky’omuzannyi ono okuzannyira Uganda mu mpaka zino nti kyokka bakyalinze kuddibwamu.

“Buli kyetaagisa Lorenzen okutuzannyira tukikolako era tusuubira nti omupiira gwa Botswana we gunaatuukira nga buli kimu kiwedde kuba tugoberedde buli mutendera ogwetaagisa okumufunira ebiwandiiko,” Hussein bwe yategeezezza.

LORENZEN TANNASALAWO KU KUZANNYIRA UGANDA:

Bukedde bwe yabuuzizza Lorenzen oba nga taafananeko Bannayuganda abalala ababaddenga bayitibwa ne batawangaala ku ttiimu, yagambye nti, eky’okuwangaala ku ttiimu oba obutagiwangaalako waakukisalawo ng’amaze okuzannya omupiira gwa Botswana kuba akyalina okutuula ne kitunzi we okusalawo eky’enkomeredde. “Nzaalibwa Bungereza ate nakulira Girmaani.

Ensi zino zombi zindi ku mutima, naye eky’enkomeredde nja kukirowoozaako ng’omupiira gwa Botswana guwedde,” Lorenzen bwe yategeezezza. Yagasseeko: “Cranes mbadde ngigoberera era ebitone bye nasanze wano n’okukolagana mu bazannyi bimpadde essuubi nti bwe tukwatira awamu tusobola okutuukiriza omulimu guno.” Mu kaseera kano atunuulidde kumatiza mutendesi amuwe omupiira gwa Botswana kuba ayagala Uganda agiyambe okuwangula etaangaaze emikisa gy’okuzannya ku mpaka za Afrika.

Yayongeddeko nti bw’anaaba waakuzannyira Cranes, ayagala afuuke omuzannyi asinga ettutumu mu Uganda.

ABAZANNYI ABAYITIDDWA KU CRANES NE BWE BAKOZE:

Martin Mutumba: Yali ssita mu AIK Stockholm eya Sweden, eyali omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson n’amuyita kyokka emipiira omusanvu gye yagizannyira mu z’okusunsulamu ez’Afrika ya 2013 ne World Cup wa 2014, teyateebayo ggoolo yonna.

Micho bwe yaweebwa omulimu mu 2013, yamuwa omukisa era n’alemwa okumumatiza n’amusuula. Savio Nsereko: Ono naye Bobby yamuyita nga Cranes yeetegekera Guinea Bissau mu z’okusunsulamu ez’Afrika ya 2012. Omupiira gwamulema wadde nga mu Chernomorets Burgas eya Bulgaria yali yaakagiteebera ggoolo 5. Okuva mu 2012, taddangamu kuyitibwa. Joel Kitamirike:

Mu 2004, yali mu Chelsea eya Bungereza, omutendesi Mike Mutebi n’amuyita okuggumiza ekisenge Cranes bwe yali yeetegekera okuzannya Rwanda ne Ghana mu z’okusunsulamu ez’Afrika. Wadde nga teyazannyayo mupiira gwonna, mu kutendekebwa yalabika nga tasobola olw’obuzito. fabian kizito:

Yali mu Leonidas FC eya Budaaki, Bobby n’amuyita Cranes bwe yali yeetegekera okuzannya Angola mu z’okusunsulamu abaazannya World Cup ya 2014. Yatandikira mu gw’omukwano ne Misiri n’ateeba ggoolo abawagizi ne bagamba nti bawonye ebbula lya ggoolo, kyokka bwe yazannya ogwa Angola ne bimwokya era tebaddangamu kumu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...