TOP

Kibuli erinnye mu likodi ya Kitende

Added 30th May 2016

KIBULI SS yamezze St. Mary's Kitende ku fayinolo y'empaka za COPA Coca Cola ez'omupiira gw'amasomero ga siniya n’egiremesa okutuuka ku buwanguzi obw’omulundi ogwomwenda.

 Abayizi ba Kubuli nga bajaganya n’ekikopo.

Abayizi ba Kubuli nga bajaganya n’ekikopo.

Fayinolo : Kibuli SS 1(4) St Mary’s Kitende 1(3)

Ekifo eky'okusatu Masaka SS 0(3) Kimaanya 0(4)

KIBULI SS yamezze St. Mary's Kitende ku fayinolo y'empaka za COPA Coca Cola ez'omupiira gw'amasomero ga siniya n’egiremesa okutuuka ku buwanguzi obw’omulundi ogwomwenda.

Kibuli yawangulidde ku peneti (4-3), oluvannyuma lw'okulemagana 1-1 mu 90. Kitende, eyaakawangula ekikopo kino emirundi omunaana, yabadde enoonya kwenkanya likodi ne Kibuli (ayabadde ku 9), kyokka byagaanyi era kati Kibuli) erina ebikopo 10.

Enkuyanja y'abawagizi beeyiye ku kisaawe kya Soroti Grounds okulaba ku bakirimaanyi b'omupiira gw'amasomero bano, wabula abasinga baabadde bawagira Kibuli SS, nga buli ddiifiri bw’afuuwa ekisobyo kya ttiimu eyo nga bamung’oola.

Kitende ye yasoose okuteeba ggoolo eyabaddde eya peneti ng’eyita mu Frank Tumwesigye, kyokka Moses Aliro n’ateebera Kubuli ey’ekyenkanyi, okukkakkana nga bagenze mu bunnya.

Kaminsona Sam Odongo, okuva mu minisitule y’Ebyenjigiriza yasabye abayizi okukuuma emipisa nga bakiikiridde Uganda mu mpaka z’amasomero g’Obuvanjuba bwa Afrika.

Kennedy Mutenyo, omu ku bakulira empaka zino yasabye abakulemebeze b’omupiira okweyambisa empaka zino okuzuula ebitone, eggwanga liwone okugobwanga mu mpaka olw’okuzannyisa abasussa emyaka.

Allan Okello (Kibuli) ye muzannyi eyasinze banne okucanga akapiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...