TOP

Micho asattira lwa buvune bwa Miya

Added 2nd June 2016

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic ali mu kattu oluvannyuma lw’okulwala kwa Farouk Miya omu ku b’abadde asibiddeko olukoba ku mupiira gwa Botswana mu z’Afrika ku Lwomukaaga.

 Micho ne Miya mu lukung'aana lwa bannamawulire gye buvuddeko

Micho ne Miya mu lukung'aana lwa bannamawulire gye buvuddeko

Lwamukaaga mu z’Afrika:

Botswana - Uganda, 11:00 SS4/SS9

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic ali mu kattu oluvannyuma lw’okulwala kwa Farouk Miya omu ku b’abadde asibiddeko olukoba ku mupiira gwa Botswana mu z’Afrika ku Lwomukaaga.

Zimbabwe yayanise ebituli ebiri mu Uganda Cranes, eyeetegekera Botswana mu z’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika omwaka ogujja.

Mu kibinja kino kye balimu, Cranes eri mu kyakubiri ng’esibaganye ne Burkina Faso ku bubonero 7 nga ggoolo ze zibaawula.

Yeetaaga kuwangula Botswana etangaaze emikisa gy’okuyitamu. Mu gw’okwegezaamu ne Zimbabwe, baakubiddwa (2-0) ekyalaze nti mu nnaku bbiri ezibulayo ensiike eno etuuke, omutendesi Micho Sredojevic akyalina eddimu okutegeka ttiimu mu kutangira n’okuzibira emipiira egiva mu kusimula ebisobyo ebiri okumpi ne ggoolo n’okutegeka ennyimirira y’ekisenge.

Ggoolo za Zimbabwe zaateebeddwa Tennage Hadebe mu ngeri ya kisaazisaazi ng’eyasoose yavudde mu kusimula kkoona eryakwatirizza abazibizi nga bayimiridde bubi.

Eyookubiri yazze mu ngeri yakusimula kisobyo, omuzannyi y’omu n’abatomerako omupiira ogwalese ng’abazibizi Isaac Isinde, Murushid Juuko, Godfrey Walusimbi ne Denis Guma nga buli omu anenya munne.

Micho yagambye nti, “Nayagadde okulaba ngeri gye nnyinza okupangamu bazannyi bange ku Botswana era nakifunye, wadde tetwawangudde naye twazannye bulungi era e Botswana tumalako.

ABATEEBI BABULAMU

Cranes erina abateebi mukaaga kyokka omutindo gwabwe gukyali wansi nga kizibu okubaako gw’osongamu nti waakusala Cranes ku kaguwa.

Geoffrey Massa ne Okwi balina obumanyirivu kyokka buli omu alina ebizibu eby’enjawulo kyokka nga mu kaseera Micho b’atunuulidde okumufunira ggoolo.

Massa bukya atandika kuzannyira Cranes tateeberangako ku bugenyi mu mpaka z’okusunsulamu ez’Afrika sso nga ne mu ttiimu ye eya Bloemfontein Celtic mu South Afrika aludde okuzannya.

Okwi, bukya yeegatta ku ttiimu ya Denmark yaakazannya omupiira gumu gwokka nga talinaayo ggoolo.

Wano Melvyn Lorenzen gwe baggye e Girimaani abasingako bw’otunuulira omutindo gwe yabaddeko ku Zimbabwe kyokka tagenda kuzannya.

Davis Kasirye azannyira mu Rayon Sport eya Rwanda, Erisa Sekisambu ne Idiris Lubega gwe mulundi gwabwe ogusooka era Micho abalowoozaako kitono.

Kitegeeza nti Cranes okufuna ggoolo terina kutunuulira bateebi bokka wabula buvunaanyizibwa bwa buli muzannyi.

Mu ggoolo, Robert Odongkara yalaze nti akyabulamu wadde nga y’omu kubaludde ku ttiimu eno.

Singa Onyango alina obuvune era tassuuka, Cranes yandisanga obuzibu. Zimbabwe yalaze Micho nti alina okukyusakyusa mu kisenge kuba Isinde ne Juuko baalemeddwa okukwatagana ate bwe yawadde Juuko ne Hassan Wasswa ne bakola bulungi Wadde Isinde aludde ku ttiimu, Wasswa ne Juuko be balina omukisa omunene okuzannya Botswana olw’ebiwago by’abateebi baayo.

MIYA ALINA KAMUNGULUZE

Omuwuwuttanyi Farouk Miya teyazannye mupiira gwa Lwakubiri ng’alina kamunguluze. Abasawo ba Cranes baamwekebezze era bakyanoonyereza ekimuviirako okufuna obuzibu buno.

“Miya akyawummuziddwa ku biragiro by’abasawo naye tusuubira nti Olwomukaaga ajja kuba ateredde,” Ekiwandiiko kya FUFA bwe kyasomye.

MIYA BW’ALWALA KITEGEEZA KI?

Abawuwuttanyi n’abateebi ba Cranes bonna Miya abasinga okuba ku foomu. Kitegeeza nti Kizito Luwagga y’agenda okujjululwa okuva mu wingi azannye amakkati ga Miya kyokka si mukugu mu kifo kino kwenkana Miya era omutendesi Micho, akyatakula mutwe ku gw’anaawa ennamba singa Miya aba tawonye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...