TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Njagala obukadde 100;Hamis Kiiza bamugobye mu Simba eya Tanzania n'akangaza

Njagala obukadde 100;Hamis Kiiza bamugobye mu Simba eya Tanzania n'akangaza

Added 5th June 2016

Njagala obukadde 100;Hamis Kiiza bamugobye mu Simba eya Tanzania n’akangaza

 Diego Hamis Kiiza

Diego Hamis Kiiza

OMUTEEBI Hamis ‘Diego’ Kiiza asabye Simba eya Tanzania obukadde 100 olw’okumusalako ng’endagaano ye ekyaliko.

Yasaliddwaako ne Bannayuganda abalala babiri okuli; Brian Majwega, Murushid Juuko lwa mpisa ensiiwuufu, abakungu ba Simba ze bagamba nti tebakyayinza kuzigumiikiriza. Diego, yeegatta ku ttiimu eno ku ntandikwa ya sizoni ewedde oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne Yanga nayo eya Tanzania mwe yali azannyira.

Gye buvuddeko Kiiza ne Juuko beediima okuzannya emipiira esatu ekyatabula abakulira Simba ne basalawo babeggyeko. Omukutu gw’amawulire ogwa soka25east.com gwategeezezza abazannyi bano bwe baagobeddwa.

Bukedde bwe yayogedde ne Kiiza (ali mu Uganda mu kaseera kano), yategeezezza nti eby’okumugoba tabimanyiiko era takisuubira kuba muganzi mu bakama be. Yayongeddeko nti, “Tewali ttiimu egoba muzannyi mulungi kyokka bwe baba baakikoze bannyongedde bugagga kubanga endagaano yange ekyaliko era bansasule obukadde 100.

Mu Tanzania ndi muganzi nnyo siyinza kubulwa ttiimu entwala,” Diego bwe yategeezezza. Ye Majwega eyeegatta ku ttiimu eno ng’ava mu Azam, omutindo gwe ogwagaanyi okumukka ne bamugoba.

Jackson Mayanja, atendeka ttiimu eno yategeezezza nti abazannyi bano (Kiiza ne Juuko) babadde basusse obutagondera mateeka nga kizibu okubeera nabo. “Mu kaseera kano ndi mu Uganda kyokka abazannyi abo babadde basusse obwakiwagi nga balowooza nti eky’okuba nti ndi Munnayuganda munnaabwe kinaabataasa.

Eby’okubagoba nabiwuliddeko kyokka sinafuna kiwandiiko kikakasa nsonga eno,” Mayanja bw’agamba.

ABALALA ABAZANNYIDDEKO E TANZANIA

Robert Ssentongo, Brian Umony, Peter Ssenyonjo, Joseph Owino, Yayo Lutimba, Simon Serunkuuma, Dan ‘Mzeei’ Serukuuma ne Abel Dhaira be Bannayuganda ababaddeko mu Diego Hamis Kiiza liigi ya Tanzania.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...