TOP

Sserumaga bamubbyeko mmotoka

Added 12th June 2016

OMUZANNYI wa SC Villa, Mike Sserumaga g’akaaba g’akomba, oluvannyuma lwa mmotoka ye ekika kya Noah okubbibwa.

 Sserumagga

Sserumagga

OMUZANNYI wa SC Villa, Mike Sserumaga g’akaaba g’akomba, oluvannyuma lwa mmotoka ye ekika kya Noah okubbibwa.

Ku Lwokutaano, Sserumaga, yafulumye ebbaala ya Bubble e Lweza n’asanga nga mmotoka ye nnamba UAN 891K we yagisimbye teriiwo.

Yadduse kipayoppayo okugenda ku poliisi y’e Kajjansi okwekubira enduulu gye yagguliddewo omusango ku fayiro nnamba 06/04/06/16 ku muganda we Denis Kapeni gw’ateebereza okuba mu lukwe olwagitutte.

Sserumaga yategeezezza nti bwe yabadde mu bbaala, yeegattiddwaako Kapeni ne mikwano gye, abaabadde batatereera wamu era baamaze ne bamutegeeza nga bwe bagenze, kyokka kyamubuuseeko okutuuka we yalese mmotoka nga teriiwo.

“Nabuuzizza omuserikale n’aηηamba nti abavubuka be mbadde nabo be bagitutte ne nziruka ku poliisi ne tubakwata kyokka kyanneewuunyisizza okuddayo nga baateereddwa,” Sserumaga bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti ekisinga okumutabula kwe kuba nti poliisi yayimbudde abantu be yakwatte ng’asuubira nti be bagenda okuvunaanibwa ku bubbi buno.

Akulira okunoonyereza ku poliisi e Kajjansi, James Isiko yategeezezza nti ensonga za Serumaga baazikolako wabula nga ye (Sserumaga) takoze kimala kubayamba.

“Sserumaga twamusabye atuwe Logo Book kyokka n’okutuusa kati akyagaanyi okugireeta nga tetusobola kunoonya mmotoka nga tetumanyi bigikwatako mu bujjuvu. Ekirala omuvubuka gw’ayita muganda we, twamumusabye tumutwale mu kkampuni y’essimu tufune be yayogera nabo olunaku olwo kyokka yagaana,” Isiko bwe yategeezezza eggulo.

Sserumaga yategeezezza nti wadde pollisi emubuzaabuza tagenda kuweeera okutuusa ng’afunye mmotoka ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...