TOP

Abaddusi 11 bagenda South Afrika kulwanirira Olympics

Added 15th June 2016

PULEZIDENTI w’akakiiko ka Olympics mu ggwanga William Blick, asabye abaddusi abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Afrika ezitandika ku Lwokusatu nga June 22 okutuuka June 26, 2016 mu kibuga Durban ekya South Afrika okusaayo nnyo omwoyo n’okulwana okulaba nga batuusa obudde obwetaagisa okukiika mu Olympics eza August.

 Kipyego ne Mande abamu ku baddusi abagenda e South Afrika okukiikirira Uganda mu mpaka za Olympics

Kipyego ne Mande abamu ku baddusi abagenda e South Afrika okukiikirira Uganda mu mpaka za Olympics

PULEZIDENTI w’akakiiko ka Olympics mu ggwanga William Blick, asabye abaddusi abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Afrika ezitandika ku Lwokusatu nga June 22 okutuuka June 26, 2016 mu kibuga Durban ekya South Afrika okusaayo nnyo omwoyo n’okulwana okulaba nga batuusa obudde obwetaagisa okukiika mu Olympics eza August.

Blick eyasisinkanye abamu ku baddusi bano e Lugogo ku Lwokubiri yagambye nti yeetaaga okubeera ne ttiimu ennene mu Olympics ezigenda okuba mu kibuga Rio De Janerio ekya Brazil n’abasaba okukuumira bbendera ya Uganda waggulu kuba guno gwe mukisa gwokka gwe balina.

Abaddusi 11 be baalondeddwa akakiiko k’ekikugu mu kibiina ekifuga emisinde mu ggwanga ekya UAF okukiikirira eggwanga mu mpaka za Afrika ez’omulundi ogwa 20.

Mu bano kuliko,Halima Nakaayi (800m), Mildred Gamba(100m), Shida Leni(400m), Pius Adome(200m), Abdallah Mmande Kibet(10,000m), Leonard Opiny (400m), Lucy Aber (wa lunnyago), Janet Achola(1500m), Jacob Araptany (3,000m SC), Racheal Zena ne Phillip Kipyeko (5,000m) ng’ono yatuusa dda obudde obumwetaagisa mu Olympics wabula yateereddwaako okulaba foomu gy’aliko okusinziira ku pulezidenti wa UAF, Dominic Otuchet. Bano baakukulemberwa omutendesi Gordon Ahimbisibwe.

Pulezidenti w’ekibiina, Otuchet yagambye nti basuubira abaddusi bano okukola obulungi nga bakozesa omukisa guno okulaba nga batuusa obudde obwetaagisa okukiika mu Olympics kuba olunaku olwa nsalesale July 11, 2017 lusembedde.

Amawanga 43 ge gagenda okwetaba mu mpaka z’e South Afrika ng’abaddusi 719 be balwanirira engule ya Afrika okusinziira ku kakiiko akategesi e Durban.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...