TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omutendesi wa Onduparaka annyonnyodde olugendo lwe olumutuusizza ku fayinolo ya Uganda Cup

Omutendesi wa Onduparaka annyonnyodde olugendo lwe olumutuusizza ku fayinolo ya Uganda Cup

Added 18th June 2016

Omutendesi wa Onduparaka annyonnyodde olugendo lwe olumutuusizza ku fayinolo ya Uganda Cup

 Kabonge mu katono ne ttiimu ye eya Onduparaka

Kabonge mu katono ne ttiimu ye eya Onduparaka

LEERO (Lwamukaaga), Vipers ne Onduparaka zittunka ku fayinolo ya Uganda Cup mu kisaawe e Nakivubo.

Omutendesi wa Onduparaka, Allan Kabonge, yannyonnyodde ebimuyambye okutuusa ttiimu wano, wamu n’okwesogga ‘Super’ sizoni ejja.

Yabitegeezezza MOSES KIGONGO bw’ati: ntandika omupiira: Omupiira nagutandika ndi muto ddala nga tuzannya gya byayi ewaffe e Wabigalo - Mityana.

Eno nabeerangayo ne bazadde bange; Ronald Kasujju Kasasa ne Agnes Nalweyiso. Oluvannyuma nneegatta ku akademi y’omwami gwe twayitanga Master Dick eyampa n’obuvunaanyizibwa bw’okubeera kapiteeni ku myaka munaana gye nnalina.

Wano abatendesi be nzijukirako nga Badru ne Kalanzi gye bandabira ne bantwala mu ttiimu y’abali wansi w’emyaka 12 era nayo nze nnali kapiteeni, ekyannyongera amaanyi n’okwekkiririzaamu.

Twazannya empaka eziwerako omwali n’eza City Tyres mwe nnayambira ttiimu yange okutuuka ku fayinolo ne FOF (Friends of Football) eyali etendekebwa Eddy Butindo e Nakivubo. Wadde baatuwangula, omutindo gwange gwawaliriza Butindo okunkansa mu FOF gye nasanga Dan Wagaluka,Tonny Odur n’abalala, era twazannyanga empaka ez’enjawulo wakati wa 1997 ne 1999.

Mu 2000, nneegatta ku Jogoo Young gye nnasanga Mike Azira, Jeremaih Ssebuyiira, Oscar Agaba, Isaac Kirabira n’abalala wansi w’abatendesi Paul Nkata ne Ibrahim Kirya.

Eno nnabeerangayo nga bwe nsoma ku Bishop Sisto Mazzolid ne Mike Sserumagga wamu ne Godfrey Walusimbi (Jjajja Waalu). Oluvannyuma lwa sizoni 3 naddayo e Mityana ne neegatta ku Mityana Utoda, era mu 2004 ne tuyingira ‘Super’, wabula saagizannyira liigi.

Ttiimu endala ze nzannyiddeko kuliko; Old timers ey’e Bugiri, Chemelil Sugars ne Agro Chemical ez’e Kenya. Bwe nava e Kenya, nneegatta ku Victors ne tuwangula Uganda Cup mu 2008, gye nava okugenda mu Express ne ngiwonya okusalwako bwe nnateeba ggoolo eyali esalawo okusigala kwaayo mu liigi.

Kino kyampa ettuttumu aba As Kigali okuva e Rwanda ne bankasa, wabula nafunirayo obuvune obwampaliriza okunnyuka omupiira.

NTANDIKA OBUTENDESI:

Ssaasooka kulowooza nti obuvune buyinza okunzigya ku mupiira ne neekakangabiriza okuzannya mu Mungano FC (Congo), kyokka ne bunyiinyiitira omupiira ne ngunnyuka.

Nakomawo mu 2010, era obutendesi na butandikira ku Lake Victoria Academy (kati Masavu) eyali ey’abaana abato. Endala ze ntendese kwe kuli; ttiimu y’Ekika ky’Emmamba, Red Cross, Nkumba University ne Aram Roses gye nasanga mu ‘Big League’ mu sizoni ya 2010/2011 ne ngireeta mu ‘Super mu 2012/2013.

Eno gye navudde okwegatta ku Onduparaka ng’ekyali mu ligyoni okutuusa sizoni eno lwe ngiyambye okwesogga ‘Super’ n’okutuuka ku fayinolo ya Uganda Cup.

EBINNYAMBYE: Nzikiririza mu kuzimba abaana abato era ne mu Onduparaka nninayo ttiimu z’abaana abali wakati w’emyaka 8 ne18. Abamu nsuubira okubayingiza mu ttiimu enkulu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...