TOP

FIFA erabudde FUFA ku by'okwewandiisa

Added 20th June 2016

FIFA erabudde FUFA ku by’okwewandiisa

FIFA ewandiikidde FUFA ebbaluwa n’egirabula nti ne kamala kagitanda ne yeewandiisa ne NCS, ejja kukaligibwa.

Mu bbaluwa eyateereddwaako omukono amyuka ssaabawandiisi Marco Villiger nga yaweereddwaako ne CAF, FIFA yagambye nti FUFA okwewandiisa mu tteeka lya NCS kikontana n’obuwaayiro bwa ssemateeka wa FIFA (14 ne 19) n’ebalabula nti Gavumenti yeeyingiza mu nsonga za mupiira, ejja kubakaliga.

Kijjidde mu kaseera nga minisita w’ebyemizannyo Charles Bakkabulindi leero agenda kusisinkana abakungu ba FUFA bamunnyonnyole ensonga ebagaana okwewandiisa ne NCS nga bw’eyagala ebibiina by’emizannyo byonna mu ggwanga bikole.

Gavumenti eyagala y’eba ebivunaanyizibwako butereevu. NCS gye buvuddeko yabadde etaddewo nsalessale wa June 30 okuba nga buli kibiina kyewandiisizza oba si ekyo ejja kuba tekyabikkiriza kuddukanya mizannyo mu Uganda. "Tukizudde nti Gavumenti ya Uganda eremedde ku ky'okuwandiisa FUFA wansi w'etteeka erigiwa obuyinza.

Wabula ffe twongera okunnyikiza kye twasibirako nti tewali gavumenti ekkirizibwa kweyingiza mu nsonga za mupiira mu ggwanga lyonna,” ebbaluwa ya FIFA bwe yagambye.

FIFA eggattako nti, bawandiise ebbaluwa eziwerako eri FUFA nga bagirabula obuteewandiisa era tebalina kye bagenda kukyusaamu. FIFA yeeyamye okusisinkana abakungu ba FUFA n’aba NCS bongere okuluhhamya ku mateeka.

FUFA ky’egamba; Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo gye buvuddeko yasabye NCS n'abakungu mu ofiisi ya ssabaluhhamya w’amateeka wa Gavumenti bakkirize okusisinkana FIFA batuuke ku nzikiriziganya. FUFA era eyagala NCS eyongerwe ebbanga etuuze ttabamiruka mu October bakole ennongoosereza mu ssemateeka.

Wadde nga balina akawaayiro akabakkiriza okutuuza ttabamiruka ow'embagirawo singa wabaawo ensonga ey'amaanyi Magogo agamba beetaaga obukadde 80 okutuuza ttabamiruka sso nga balina ebintu bingi eby'okusaasaanyaako ensimbi mu kaseera kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...